KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayanjudde pulogulamu y’ebikujjuko eby’okujaguza amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 33 agagenda okubeera ku ttabi lya Watoto Church e Bweyogerere.
Enteekateeka zino ezanjuliddwa mu lukiiko lwa Bannamawulire lwatuzzizza e Bulange-Mmengo emisana ga leero nga lwetabiddwamu Bammemba ku lukiiko olutegeka ebijaguzo bino wamu n’obukulembeze bw’ekanisa ya Watoto.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga (wakati) ng'ali mu Lukiiko mweyayanjulidde enteekateeka z'ebijjguzo by'amatikkira ga Kabaka age 33
Mayiga yeebazizza abakulira ekkanisa ya Watoto olw’okukkiriza okutegeka omukolo guno ogw’okujaguza bukya Obwakabaka buddawo mu 1993 ate bwali bumaze emyaka 27 nga buggyiddwawo ate era n’abeebaza olw’okukolagana obulungi n’olukiiko olutegesi.
“Neebaza nnyo ekkanisa ya Watoto olw’okuteeka mu nkola okusiima kwa Kabaka okuleeta mu kifo kyabwe. Okutegeka omukolo ogulimu Kabaka si kyakuzannya, kitwala obudde, ensimbi, ebikozesebwa ate oluusi kitiisa n’okutiisa. Kale mbeebaza olw’okutambula naffe,” Mayiga bweyebazizza Watoto.
Ebijaguzo bino bitambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti “Tube bavumu okukuuma obuwangwa bwaffe”.

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku bantu
Mayiga agambye nti omulamwa guno gugendererwamu okukunga abantu ba Buganda okubeera abavumu mu kukuuma obuwangwa bwa Buganda nga bwebatakola kino, emirembe egijja tegijja kubusangawo olw’engeri ensi gyezze ekyukakyukamu naddala omulembe guno ogwa tekinologiya oguzze.
Ebijaguzo bigenda kutandika kutandika olunaku lw’enkya n’empaka z’omuzannyo gwa Badminton ezigenda okubeerawo okuva nga July 17-19,2026 mu kisaawe ekibike e Lugogo mu Kampala.

Katikkiro Mayiga ng'aliko byanyumya ne Pr. Julius Rwotlonyo akulira ekanisa za Watoto mu Uganda nga July 16,2026
Ate ku lunaku lwa July 19,2026 wagenda kubeerayo enteekateeka y’abavubuka eyitibwa Muvubuka Yoyoota ggombolola nga gwakubeera ku mbuga y’eggombolola ye Maanyi mu ssaza ly’e Busujju. Eno egenda kukulemberwamu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu wamu n’olukiiko lwa Buganda Youth Council olukulembera abavubuka mu Buganda.
Ku lwa July 23,2026 wajja kubaayo okutema evvunike ly’ekisaawe ky’e Buddu ku ssaawa kkumi ez’olweggulo. Ku makya wagenda kubeerayo okukwasa abaami b’eggombolola tabuleeti ezikozesebwa ku mutimbagano gwa yintaneeti,” Mayiga bwalambuludde.
Buli bujaguzo ekikulu kino lwebibeerayo wabeerawo okukola Bulungibwansi ow’omuggundu. Ku mulundi guno agenda kukolebwa mu kitundu ky’e Bweyogerere, okuzingiramu n’ekifo ky’ekanisa ya Watoto ku lwokutaano nga July 24,2026.

Katikkiro nga bawayaamu
“Ate era nga July 24-26,2026 wagenda kubeerayo okusabira Kabaka okwetoloola amasinzizzo gonna n’obubaka bwa Katikkiro bwanakwasa abaami ku mitendera egy’enjawulo, bujja kusomebwa. Ku lwa July 25 tugenda kubeerayo n’ekyoto ng’ekikulu kigenda kubeera Kasangati ku mbuga y’essaza ly’e Kyadondo,” Mayiga bwagaseeko.
Olw’okutumbula eby’ebyenjigiriza mu Buganda, evvunike ly’ekizimbe ggalikwoleka ku yunivasite y’Obwakabaka eyitibwa Muteesa I Royal Yunivasite e Kakeeka- Mmengo nga July 27,2026. Omukolo guno gugenda kukolebwa Nnaalinya Lubuga Dr. Agnes Nabaloga. Oluvanyuma lw’omukolo guno, Dr. Nabaloga wakubeera omugenyi omukulu ku musomo ogw’enkizo ogunaweebwa, Kkangaawo Dr. Ronald Mulondo,Omwami akulembera essaza ly’e Bulemeezi ku yunivasite yeemu.
Ku lwa July 29,2026 wagenda kubeerawo omukolo omukulu ogw’okusosotola ennyimba entuufu entongole ey’ekitiibwa kya Buganda ku ssaawa taano ez’okumakya mu bimuli bya Bulange.

Katikkiro Mayiga ng'aliko byanyumya ne Pr. Julius Rwotlonyo akulira ekanisa za Watoto mu Uganda nga July 16,2026
Mayiga akunze Obuganda okutegeka amakula ga Kabaka kubanga gagenda kuleetebwa n’okukunganyizibwa mu Lubiri e Mmengo ate lunaku lw’erumu olw’eggulo wabeereyo omusomo ogukwata ku lubugo mu Buganda.
Entikko y’ebijjaguzo bino egenda kubeerawo ku lwa July 31,2026 ku kanisa ya Watoto e Bweyogerere okutandika n’essaawa nnya ku makya. Okusaba kwakukulemberwamu Pr. Julius Rwotolonyo, akulira ekanisa za Watoto mu Uganda era Katikkiro Mayiga yanabeera omugenyi omukulu.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu era nga ye Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka ebijaguzo bino, Joseph Kawuki abuulidde Katikkiro Mayiga ng’enteekateeka zino bwezitambula obulungi okuva olukiiko luno werwatongozebwa nga June 12,2026 okuli okulambula ekifo awagenda okubeera omukolo, okuteekawo obukiiko n’ebirala.
Pr. Rwotlonyo nga naye abaddewo ku mukolo guno ogw’okwanjula Pulogulamu y’ebijjaguzo bino yeebazizza Kabaka olw’okusiima bategeke omukolo n’asuubiza nti bagenda kufuba okuteekawo enteekateeka ey’omutindo
Olukiiko oluli mu nteekateeka ku ludda lwa Watoto, lukulemberwa Dr. Jeff Ssebuyira, ng’ono y’omu ku bakadde mu kanisa eno yeyamye okukola enteekateeka ennungamu enaweesa Obwakabaka n’ekanisa ekitiibwa ekibigwanira.