Amawulire

Basonze bukadde ku Klezia y’e Lugajju

FAAZA Leonard Lutwama okuva mu kigo ky’e Kabuwoko mu distulikiti y’e Kaliisizo, awabudde abavubuka abagenda mu nsi z’Abawarabu okukola obupakasi babiveeko kuba tekiyamba, wabula amakanda bagasimbe wano beenyigire mu kulima n’emirimu emirala egikulaakulanya.

Aba Friends of Katale nga bali n’Abakristu b’e Bugajju.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

FAAZA Leonard Lutwama okuva mu kigo ky’e Kabuwoko mu distulikiti y’e Kaliisizo, awabudde abavubuka abagenda mu nsi z’Abawarabu okukola obupakasi babiveeko kuba tekiyamba, wabula amakanda bagasimbe wano beenyigire mu kulima n’emirimu emirala egikulaakulanya. Fr. Lutwama yategeezezza nga bw’atendeka abavubuka emirimu egy’enjawulo era nga bangi ku bano basobodde okwekulaakulanya n’okwenyigira mu bibiina by’obwegassi. Bino yabyogeredde ku Klezia ya St. Francis Lugajju mu disitulikiti y’e Kaliisizo mu Mmisa, eyakulembeddwa Fr. Deogratius Yiga, nga kyategekeddwa Paul Kigonya enzaalwa mu kitundu era nga mmemba mu kibiina kya Friends of Katale. Ekibiina kyatandikibwa ab’emikwano ku musingi gwa klezia, nga kitambulira ku mulamwa ogugamba: ‘Ku lw’obumu n’omukwano’. Bano basinziira Seguku Katale ku lw’e Ntebe. Ku lwa Paul Kigonya, basonze obukadde 18 ku mulimun gw’okussa tayirozi mu Klezia eno.

Amyuka ssentebe wa Friends of Katale, Denis Sserunkuma yagambye nti baategeezebwa ku by’okuddaabiriza Klezia nti baali beetaaga obukadde 12.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: