BOOFIISA ba poliisi babiri abakaayanira ettaka ly’amalundiro basitudde minisita w’Ebyettaka Sam Mayanja okukkakkanya embeera.
Ettaka lino liri Lyantonde era boofiisa abalikaayanira kuliko SP Denis Musinguzi ne CP. Sarah Mwesigwa nga kuliko malundiro era lisukka mu yiika 600 ku kyalo Katooma mu ggombolola y’e Lyakajjula mu disitulikiti y’e Lyatonde. Gye byakkidde nga minisita alagidde Musinguzi okulyamuka.
Minisita Mayanja okuyingira mu nsonga zino, kyaddiridde aba famire ya Mwesigwa okwekubira enduulu mu ofiisi ye nga balaga obutali bumativu olwa Musinguzi okulemera ku ttaka kkooti lye yamulagira okuva.
Mayanja ng’ali wamu n’akola ku nsonga ez’enkizo mu ofiisi ya Pulezidenti, Phionah Barungi baasoose kutuuza lukiiko ne bawuliriza enjuyi zombi nga tebannasalawo kya nkomeredde.
Mwesigwa eyabadde ne kitaawe Kezekiya Mwesigwa, bannyonnyodde Mayanja nti, baagula ettaka lino eriweza sikweya mayirobbiri ku Taban Muhamood buli musenze n’aweebwa ekiseera eky’okulivaako nga ne famire ya Musinguzi mw’ogitwalidde kyokka abalala baavaako ye Musinguzi n’alemerako. Bamwesigwa bagamba nti, baagenda mu kkooti era omusango ne bagusinga kyokka Musinguzi ne yeerimbika mu kujulira nga y’ensonga lwaki abadde alemeddeko.
Baayongeddeko nti, ekiseera ekyabaweebwa kyaggwaako kyokka Musinguzi n’asigala ku ttaka n’ensolo zaabwe nga babadde batandise n’okutuusa obulabe ku famire ya Mwesigwa.
Wabula ne Musinguzi yategeezezza nti, ku ttaka agobwawo mu bukyamu kuba teyamatira na nsala ya kkooti bwe yamusingisa omusango era n’ajulira era ng’omusango gwa kuwulirwa nga July 3, 2025. Wano we yasabidde minisita okubeera omwegendereza era omwenkanya aleme kuyingirira nsonga za kkooti.
Oluvannyuma lw’okuwulira enjuyi zombi, Mayanja yalagidde Musinguzi ave ku ttaka eryo kuba aliriko mu bukyamu.
Yategeezezza nti, abantu abamu baagala nnyo okwerimbika mu kujulira mu kkooti naye nga bakyamu. Wano we yategeerezza nti, azze ku ttaka lino kussa mu nkola nsala kkooti gye yawa.
Ate Barungi yagambye nti, ensonga z’ettaka lino zaatuuka ne mu ofiisi ya Pulezidenti era nga zibadde zisobola okuvaamu obulabe nga y’ensonga lwaki basitukiddemu okuzisalira amagezi abantu babeere mu ddembe.