MINISITA Sam Mayanja azzizza abatuuze abaali baasengulwa omugagga ku kyalo n’alagira akwatibwe obutasukka ssaawa 24. alessale w’okukwata omugagga
Moses Kazibwe amanyiddwa ng’asusse okuliisa abantu akakanja mu Mpigi ne Gomba
ng’abasengula ku ttaka, minisita omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja amukoledde ku kyalo ky’e Budonga mu ggombolola y’e Mpenja e Gomba gy’azzizza abantu
abasoba 100 ku bibanja byabwe gye babadde baagobwa okumala emyaka etaano.
Mu lukiiko Minisita Mayanja lwe yatuuzizza e Budonga mu Gomba, yasoose kusomesa bantu mateeka agakugira oweekibanja okukwatibwako wadde okutaataaganyizibwa
nnannyini ttaka era n’alagira buli eyagobwa ku kibanja kye addeyo bunnambiro ate n’omugagga eyabasengula akwatibwe avunaanibwe.
Abatuuze b’e Budonga abaasengulwa mu bibanja byabwe baasoose kulaajanira minisitam Mayanja nti Kazibwe bwe yategedde nti minisita agenda kugendayo n’apangisa bannansi ba Congo okubatangira okulambula ettaka lino lye yasiba sseng’enge lyonna.
Nnamukadde Efulaim Lutakome 85, ye yasoose okulombojjera embeera mw’ayita oluvannyuma lwa Kazibwe okumugoba mu kibanja kye gye yali alimira emmere ebeezaawo ffamire ye nga kati tebakyalina kyakulya. Kamadah Kabanda eyalina ekibanja ekiwerako yiika nnya (4) ategeezezza nti Kazibwe yabakwata ng’akozesa poliisi ne babaggalira n’ekigendererwa ky’okutwala ebibanja byabwe ne baggulwako
emisango emijingirire. Bano balumirizza Kazibwe okwonoona ebirime byabwe okuli emmwaanyi, ensuku n’ebirime gattako okubikka ettaka ku malaalo gaabwe n’ekigendererwa ky’okubuzaabuza obujulizi nti tebalinaawo bwannannyini ne basaba Mayanja abayambeko kubanga yeeyambisa amannya g’abanene mu gavumenti
n’abatiisatiisa n’emmundu.
Minisita Mayanja yagambye nti nnannyini kibanja waddembe okuguza nnannyini ttaka
ekibanja oba obutamuguza ate nga n’okwegula ddembe lye era n’abasaba obutaddamu kutiisibwa bannannyini ttaka nga babasalako bitundu byabwe mbu babawe ebyapa ky’ayise obubbi. Yayongeddeko nti Kazibwe bw’aba yagula ettaka eririko abeebibanja,
okusinziira ku tteeka ly’ettaka yagula mpewo era n’alagira poliisi y’e Gomba emukwate obutasukka ssaawa 24 aggulweko emisango okuli ogw’okwonoona emmere, ogw’okusaalimbira mu bibanja by’abatuuze n’ogw’okutaataaganya eddembe ly’abafu.
Mayanja yanenyezza poliisi okulwawo okumukwata ng’ate yalagira akwatibwe e Bunjakko gye yali asengudde abatuuze abasoba 300. Wabula Kazibwe bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti minisita Mayanja asusse okumusibako emisango gy’atamanyiiko ng’amuwaayiriza okusengula abantu era n’ategeeza nti Mayanja abatuuze ku ttaka lye amenya mateeka era waakuyita mu mateeka amuvunaane.