OMULAMUZI wa kkooti esookebwaako e Matugga, Esther Nahiirya azzizzaayo taata Musaasizi Herbert Lumu 41, mu kkomera e Luzira n'amulagira okukomawo ng'ennaku z’omwezi 24 omwezi guno okumusomera omusango ku bigambibwa nti yatta omuyizi w'essomero lya Hill Side SSS Matugga Martin Bukenya bwe yali atwalidde mukwano gwe akamuli ka Valentine ku lunaku lw’abaagalana.
Musaasizi kigambibwa nti yatta Martin Bukenya nga 14 February omwaka guno nga kigambibwa nti yali atwalidde muwala we akamuli ka Valentine era bwe yamala okutta n’addukira e Gulu poliisi gye yamukwatira era n’emukomyawo ku poliisi gye yaddiza omusango guno.
Eggulo Musaasizi yakomezeddwawo mu kkooti esookebwako e Matugga okuva mu kkomera e Luzira era omulamuzi Nahiirya n’amuzzaayo e Luzira okutuuka nga February 24 era n’abaffamire ya Bukenya nga bakulembeddwa maama we Imelda Nakiyemba nabo mu kkooti babaddemu.
Omulamuzi Nahiirya agambye nti ku lunaku lwe banaamukomyawo lwe bajja okumusomera omusango gwe ssinga poliisi enaabeera emalirizza okunoonyereza ku musango guno.
Maama Bukenya, Nakiyemba yeemulugunyizza ku ngeri omusango gwe gye gutambuddemu akasoobo kuba bakola ekisoboka okulaba nga banoonya omuwala eyavaako Martin okuttibwa ng’ono baamuggya mu bitundu by’e Nakasongola.
Ono era agambye nti n’omukozi eyali awaka naye baamuggya mu bitundu by’e Nakasajja e Mukono.
Kyokka wano we yeemulugunyirizza nti n’omusibe kyewuunyisa nga poliisi tennaba kujjuza ffayiro okulaba nga bamusomera omusango.
Kyokka agambye nti omuwala ye yamusonyiwa era n’asaba abamuli okumpi okumubudaabuda olw’ekikangabwa ekyamutuukako wabula n’amusaba yeeyongereyo n’emisomo gye.
Bo abooluganda abalala okuli Muganzi Mariam ne Betty Nanfuka bagambye nti kyewuunyisa okuba nga kati bakyanonyerezza kyokka ng’omusibe naye yeeyogerera nti yatta nga bano baagala omusango gwabwe gutambule.