ABASUUBUZI batasiizza omwana nnyina gwe yakutte namuteeka mu mipiira gye mmotoka n’ekigendererwa ky’okumutta oluvannyuma n'adduka , omwana baamututte ku poliisi y’oku kalerwe.
Poliisi yatandise dda n’omuyigo gw’omukyala eyategeerekeseko erya Nakamya agambibwa okuteeka omwana wansi w’emipiira gy'emmotoka n’ekigendererwa ky’okumutta.
Abasuubuzi abakolera ku nkulungo y’oku Kaleerwe baayanguye okumulaba ne bamutaasa wabula Nakamya n'adduka ng’omwana yatwaliddwa ku poliisi y’oku Kaleerwe
Emmanuel Lutaaya omu ku baatasiizza omwana yategeezezza nti Nakamya yasoose kwagala kusuula mwana mu mwala bwe yalabye abamu bamutaddeko amaaso n'abulawo.
Ayongerako nti waayise eddakiika ntono n'amukwata n'amukuba empi ng’ali bwereere oluvannyuma yalabye mmotoka zirinda ebitaala ku nkulungo y’oku Kaleerwe n'amukwata n'amuteeka wansi w’emipiira gy'emmotoka ekika kya Premeo era kaabuze katono ow'emmotoka asimbule we baalabidde omwana ne bakuba enduulu ne bamuggyayo.
Omwana yatwaliddwa ku poliisi y’oku kaleerwe ng’okunoonyereza Nakamya bwe kugenda mu maaso ng’abamu baategeezezza nti Nakamya alabika alina ekikyamu ku mutwe.
Rebecca Nzabyake omu ku basuubuzi abakolera ku nkulungo y’oku Kaleerwe yasabye abaserikale bamuwe omwana ono amukuze ne bagaana ne bategeeza nti bakyakola okunoonyerezza ku taawe w’omwana nga ne Nakamya bamunoonya bazuule ekyamuviriddeko okwagala okutta omwana bw'anaaba alina ekikyamu ku mutwe atwalibwe e Butabika .