Loole ebadde etwala abayizi okuwagira omupiira eremereddwa okulinnya akasozi n'ebayiwayo ; omu afiiriddewo

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Twaha Kasirye ategeezezza nti akabenje kano kaaguddewo ku Lwokusatu akawungeezi ku kyalo Kalama mu Kyamuliibwa Town Council e Kalungu

Loole ebadde etwala abayizi okuwagira omupiira eremereddwa okulinnya akasozi n'ebayiwayo ; omu afiiriddewo
By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision
#Kalungu #Bayizi #Loole #Baana #Ssomero

OMUYIZI omu afiiriddewo n’abalala 47 ne baddusibwa mu malwaliro ag'enjawulo gye bapooceza n'ebisago oluvannyuma lw'okugwa ku kabenje nga bagenda okusamba n'okuwagira omupiira ogw'omukwano.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Twaha Kasirye ategeezezza nti akabenje kano kaaguddewo ku Lwokusatu akawungeezi ku kyalo Kalama mu Kyamuliibwa Town Council e Kalungu, ku luguudo lwa Villa Maria-Gomba.

Omu Ku Bayizi Abaayisiddwa Obubi Ng'apooceza Mu Ddwaaliro.

Omu Ku Bayizi Abaayisiddwa Obubi Ng'apooceza Mu Ddwaaliro.

Emmotoka ekika kya Canter Tipper namba UAZ 563F kwe babadde yaremereddwa okulinnya olusozi n’edda emabega ku misinde abayizi bano ab'essomero lya Elite High School e Bugomola mu ggombolola y'e Lwabenge ne bakunkumuka nga bwe bagwa mu luguudo munnaabwe, Andrew Sserunjogi 19, owa siniya ey'okuna n'afiirawo.

Abamu ku bapooca n'ebisago kuliko Achileo Ssemwogerere, Arram Nsubuga, Ronald Ssebuuma, Emmanuel Lubega, Herbert Magezi, Deo Makubuya, Umaru Mulindwa, Joseph Mwangi, Francis Kizito, Innocent Kabagambe, Juma Bukenya.

Ttipa Okwabadde Abayizi Bano.

Ttipa Okwabadde Abayizi Bano.

Abalala kuliko  Sharif Ssebulime, Shafik Bbosa, Steven Njalabuza, Michael Kalekeezi, Pius Matovu,Farouk Kyanzi Scholastica Kyalimpa, Henry Kaweesi, Hamza Lubowa n'abalala abali mu malwaliro okuli Kyamuliibwa Health Centre IV, Villa Maria, Kitovu n'ekkulu ery'e Masaka.

Ono Yafunye Ekisago Ku Mutwe.

Ono Yafunye Ekisago Ku Mutwe.

Godfrey Kalema omu ku badduukirize abaasoose mu kifo awaagudde akabenje kano yategeezezza nti abayizi bano okubadde n'abasomesa baabadde bakunukkiriza mu 50 nga beepakidde ku ttipa eno eyabadde ebatwala ku Green Hill SS, e Kyamuliibwa gye baabadde bagenda okuzannya n'okuwagira omupiira ogw'omukwano.

Vincent Ssekalema, kkansala akiikirira Kyamuliibwa Town Council ku disitulikiti ne Godfrey Wassajja abamu ku bakulembeze mu kitundu kino baategeezezza nti kaabadde kaseera kazibu nnyo nga ambyulensi zisomba abayizi okubaddusa mu malwaliro.

Baagumizza abazzadde nti abasinga embeera yaabwe teyeeraliikiriza. Poliisi etegeezezza nti bakyanoonyereza ekituufu akabenje kano kwe kaavudde nga bwe bayigga n'omugoba wa loole eno annyonnyole ebyabaddewo.