Kkooti eragidde bannamateeka okuwumbawumba mu gwa Nambi ne Nalukoola

7 hours ago

OMULAMUZI Benard Namanya alagidde bannamateeka abali mu musango gwa Faridah Nambi mw’awakanyiza obuwanguzi b’omubaka Elias Luyimbaazi Nalukoola kububaka bwa Kawempe North okuwumbawumba obujulizi bwabwe.

Nambi ne Nalukoola
NewVision Reporter
@NewVision
16 views

OMULAMUZI Benard Namanya alagidde bannamateeka abali mu musango gwa Faridah Nambi mw’awakanyiza obuwanguzi b’omubaka Elias Luyimbaazi Nalukoola ku
bubaka bwa Kawempe North okuwumbawumba obujulizi bwabwe.
Ekiragiro kino kiddiridde Nambi okumalayo abajulizi be yaleese mu musango guno ate ne Nalukoola n’amalayo abajulizi be abamuwolereza mu musango mw’agambira nti
teyeenyigirako mu kugulirira balonzi wamu n’okusaba akalulu mu kiseera ky’okulonda.
Kkooti yakomekkerezza n’obujulizi bwa kkansala omukyala ow’e MpererweRitah   Nabakooza ng’ono babadde bamulumiriza okugulirira abalonzi mu kiseera
ky’okukuba kampeyini mu kalulu k’okuddamu okulonda.
Nabakooza yeegaanyi eby’okugulirira abalonzi n’agamba nti ebifaananyi ebyaleetebwa mu kkooti nga bamulumiriza okugabira Mary Kibuuka ebintu omuli emigaati,  ssabbuuni  n’ebikozesebwa ebirala, yagambye nti nkolaye okugabira abantu abali mu
bwetaavu naddala abo abali mu kitundu kyatwala nga kkansala.
Bannamateeka ba Nalukoola baasabye kkooti eggyeobujulizi bwabwe obw’abantu  babiri okuli George William Mawumbe ne Nathan Muwanguzi Kyemba nga bagamba nti babadde bawadde obujulizi ku ludda lwa Nambi wadde ne ku  udda lwabwe baawa obujulizi. Omulamuzi Namanya yaakkiriza okusaba kwabwe era  n’abuggya ku fayiro.  yaabwe n’alagira oludda oluwaabi okussaamu empumbabumba yaabwe ku musango  guno ku Mmande nga May, 19, ku Lwokubiri bannamateeka ba Nalukoola nabo basseemu
empumbawumba yaabwe ate oludda lwa Nambi bwe baba balina kye baddamu bakikole
ku Lwokusatu nga May 21, 2025.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.