Robert Kyagulanyi Ssentamu akwatidde ekibiina kya NUP bendera ayuugumizza Busaabala ng'anoonya akalulu mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo.

Abamu ku bawagizi ba Kyagulanyi abaabadde bamulabira waggulu ku kizimbe
Kyagulanyi asinzidde eno n'asiima Ssaabasajja Kabaka olw'obubaka bwa mazaalibwa bwe yawadde bw’agamba nti bujjidde mu kiseera ekituufu nga Bannayuganda naddala abawagizi be batulugunyizibwa abeebyokwerinda.
Kyagulanyi yasuubizza okuzza abavubi ku nnyanja n'okuddiza abantu ettaka lyabwe erizze libanyagibwako.

Abawagizi ba Kyagulanyi abeeyiye mu kisaawe