Omukazi agambibwa okufumita omwana we ebiso n'amutta naye n'agezaako okwetta olw'obutakkaanya mu maka ne bba, poliisi emukutte.
Bibadde mu zzooni ya Lusaze mu diviizoni y’e Rubaga mu Kampala, Shivan Aine 24 gy'agambibwa okuttira muwala we ow'emyaka 3 Neila Ayongeirwe.
Bino bibaddewo, nga taata w'omwana Dickson Bakwatanisa taliiwo era olumaze okumutta naye n'agezaako okweggya mu nsi kyokka ne bamwanguyira ne bamutwala mu ddwaaliro e Mulago gy'ali mu kufunira obujjanjabi nga poliisi emukuuma.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, avumiridde ekikolwa kino era n'awa ababeera basoowaganye mu maka amagezi, okugenda ku poliisi oba eri aboobuyinza abalala, babayambe okusinga okwenyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo.