Bya Paul Galiwango
OKUWULIRA obujulizi ku musango Kojja Kimbowa omutunzi w’eddagala ly’ekinnansi mw’avunaanira omuvubuka Kenneth Kakangula okumukuba n’amutuusaako obuvune n’okwonoona essimu ye ey’omu ngalo kutandise.
Richard Kimbowa amanyidwa nga Kojja Kimbowa yawawaabira Kakangula ku poliisi ya Old Kampala nga December 26, 2021 ng’ amuvunaana okumukuba n’amutuusaako obuvune awatali nsonga nnambulukufu bwe yali akedde okugenda mu kifo w’akolera.
Kakangula yasimbibwa mu kkooti, omusango n’agwegaana era ne yeeyimirirwa ku kakalu ka kkooti.
Kimbowa yaleese abajulizi basatu mu kkooti okuli; n’omuserikale wa poliisi eyakola ku kunoonyereza ku musango guno, omu kubakozi be wamu n’omupangisa we era m ubujulizi bwe yaleese kwe kwabadde n’ebbaluwa by’eddwaaliro ly’e Lubaga gy’agamba okufunira obujjanjabi.
Wabula Kakangula yasoose kukiwakanya ng’ ayagala Kimbowa asooke kuleeta musawo eyamujjanjaba wabula omulamuzi Augustine Alule Koma ali mu mitambo gy’okuwulira omusango guno yakkiriza okugatta ebbaluwa y’eddwaaliro ku bujulizi bwa kkooti.
Kimbowa yategeezezza nti nga Kakangula amaze okumukuba yagenda ewa nnyina n’amutegeeza kyokka n’amutegeeza nti akwatagane ne Kakangula.
Kimbowa agamba nti yakubira poliisi eyajja n’etwala Kakangula ng’era yasooka kwesibira mu nnyumba wabula poliisi n’emenya n’emuggyayo n’atwalibwa ku poliisi ya Old Kampala.
Kakangula yaweereddwa akakisa okubuuza Kimbowa ebibuuzo okusinziira ku bujulizi bwe yawadde kkooti.
Yamubuuliza oba yamukuba ayimiridde n’ateerwanako ye ate abantu abaaliwo n’engeri gye yakubiramu poliisi essimu nga ate nga yali eyonoonese wabula byonna Kimbowa yabizzeemu.