Omusika wa Kato Lubwama bamusibiridde entanda

OMUGENZI Paul Kato Lubwama era eyaliko omubaka wa Lubaga South mu Palamenti era munnakatemba, olumbe lwe lwayabiziddwa wakati mu bannabyabufuzi okulwesamba kyokka bo bannakatemba ne balujjumbira.

Omusika wa Kato Lubwama bamusibiridde entanda
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUGENZI Paul Kato Lubwama era eyaliko omubaka wa Lubaga South mu Palamenti era munnakatemba, olumbe lwe lwayabiziddwa wakati mu bannabyabufuzi okulwesamba kyokka bo bannakatemba ne balujjumbira.
Ku babaka ba Palamenti ab’ebibiina eby’enjawulo, bana bokka be baalabiseeko okuli
owa Kampala Central, Muhammad Nsereko ng’ono abadde mu nteekateeka z’olumbe luno, Geoffrey Lutaaya owa Kakuuto, Hillary Kiyaga owa Mawokota North ne Geoffrey Kayemba Solo owa Bukomansimbi South be baalabiseeko.
Bo bannakatemba n’abayimbi omukolo bagujjumbidde nga kwabaddeko; Abbey Mukiibi, Aloysius Matovu Joy, John Ssegawa, Mesach Ssemakula, Ronald Mayinja, Dr Bbosa, Ssenga Nantume, Rebecca Jjingo, Charles James Ssenkubuge Siasa, Abdul
Zaake Ssemakula n’abalala.
Kuno kwegattiddwaako mikwano gy’omugenzi okwabadde; Robert Kasibante owa Victory School of Beauty, Miles Rwamiti, Kojja Kimbowa n’abalala.
Baabadde bakyali awo, omusuubuzi wa yingini z’amaato eza Yamaha, Godfrey Muhiirwa owa Yamaha Center mu Ndeeba, n’abayiwamu ente.
Wadde olumbe lwabadde mu kibuga, waabaddewo okukooza nga bwe gutera okuba era emikolo gyayisiddwa mu ngeri ya kinnansi ddala.
Abbas Mpanga Tebudda ow’oluggya lwa Ssenjabya e Kaligwa Mawokota mu kika ky’Effumbe ye yakoze ogw’okusumika Conrad Ssaabwe Lubwama eyasikidde kitaawe ne lubuga we Harriet Nanteza n’abakuutira okukulembeza obuwangwa bwabwe nga kitaabwe bwe yali.
Mu kiro ekyakeesa Olwomukaaga, kyasula kitokota, abayimbi ne bannakatemba bwe bakoose okutuusa obudde okukya nga omugenzi bwe yalaama. Abayimbi ab’amannya okwabadde; Ssemakula, Mayinja, Jjingo n’abalala be bamu ku baayimbye ennyimba
z’omugenzi n’ez’obuwangwa.
Ebyokunywa byabadde bingi ddala era abatuuze baasuze banywa. Nga bwe gwali mu kuziika, bannaddiini ne ku lumbe tebaalabiseeko era olwamaze okusumikira omusika, ku makya g’Olwomukaaga ne bamulaga eri abantu. Pasita Aloysius Bujingo yabaddewo n’asabira omusika atuule bulungi mu ngatto za kitaawe.
Ssaabwe, yakwasiddwa ensawo y’olubugo, Katikkiro w’essiga lya Magunda Walusimbi Mpanga, n’amukuutira okuba omusajja omukozi, akole ng’atereka. Yamusabye
obuteerabira ggwanga lye Buganda n’obuwangwa bwe.
Minisita w’e Mmengo, Israel Kazibwe Kitooke ye yaakiikiridde Katikkiro Peter Mayiga n’atendereza Kato nti yali munnabitone eyakozesa ekitone kye okuyitimuka.
Yasiimye Gavumenti ya NRM
olw’okuddiza Buganda ebyayo
n’okukomyawo Obwakabaka,
kuba obuwangwa kikulu nga
bwasobola okukuuma Abaganda
nga bali bumu ebbanga Ssekabaka
Muteesa II bwe yawang’angusibwa
n’asaba n’ebikyasigaddeyo nabyo
bikomezebwewo.