KKOOTI enkulu mu Kampala eragidde akulira amakomera, Dr. Andrew Bashaija okuleeta lipooti ku bulamu bwa Besigye.
Omulamuzi Emmanuel Baguma alagidde Dr Bashaija akwatagane n’abasawo mu ddwaliro e Mulago bamuwe lipooti gye banaaleeta mu kkooti okusobola okulung’amya oba Besigye asobola okuvunaanibwa mu mbeera gy’alimu.

Banne ba Besigye, Hajji Lutale ne Capt. Oola mu kkooti.
Kino kiddiridde abaserikale b’amakomera okuleeta ebbaluwa mu kkooti ng’ebagamba nti Besigye tasobodde kujja mu kkooti kubanga tali bulungi era yaweebwa ekitanda mu ddwaliro ekkulu e Mulago gyajjanjabirwa kati.
Sylvia Namawejje omu ku bannamateeka ba Besigye ye yasaba kkooti wiiki ewedde nti omusango kyetaaga okusaba kwonna okuleetebwa oludda oluwaabi, kuleetebwe ng’abawawaabirwa bonna weebali mu kkooti.

Besigye ne Lutale bwe baali mu kkooti enkulu gye buvuddeko.
Banne ba Besigye baavunaanibwa nabo bo babaddewo mu kkooti era oludda oluwaabi lutegeezezza nti beetegefu okuwulira obujulizi.
N’omuzungu era omujulizi asooka Andrew Williams Orlando abaddewo nnyo okuwa obujulizi bwe.