Amawulire

Besigye ne Lutale baagala kkooti ebakkirize bayite mu mawulire okuweereza Gen. Muhoozi ebiwandiiko by’empaaba yaabwe

Ng’ayita mu balooya aba Kiiza &Mushisha Advocates, asabye kkooti bayite mu mpapula za mawulire okuli New Vision ,Daily Monitor ne Observer kubanga zituuka buli wamu mu ggwanga.

Besigye ne Lutale baagala kkooti ebakkirize bayite mu mawulire okuweereza Gen. Muhoozi ebiwandiiko by’empaaba yaabwe
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Dr. Kiiza Besigye n'omuyambi we, Hajji Obed Lutale basabye kkooti ebakkirize bayite mu mawulire okuweereza omuduumizi w’amagye g’eggwanga, Gen. Muhoozi Kainerugaba ebiwandiiko by’empaaba yaabwe.

 

Ng’ayita mu balooya aba Kiiza &Mushisha Advocates, asabye kkooti bayite mu mpapula za mawulire okuli New Vision ,Daily Monitor ne Observer kubanga zituuka buli wamu mu ggwanga.

 

Besigye ne Lutale baawawaabira omudumizi w’amagye Gen Muhoozi Kainerugaba ne bannamagye abalala nga babalumiriza okubazza mu Uganda okuva e Kenya mu bukyamu ne balinnyirira eddembe lyabwe ssaako okubatulugunya n’okubasibira mu kkomera lya magye e Makindye mu bumenyi bw’amateeka.

 

Besigye era ayagala kkooti eragire Gen. Muhoozi aweebwe ebiwandiiko ku ofiisi gy’akolera emirimu oba mu makaage oba ekifo kyonna kkooti ky’eraba ekisaanidde.

 

Bano bagamba nti balemeddwa okuwa Gen Muhoozi empaaba yaabwe mu buntu ng’emikutu gye baali baagala okuyitamu bonna babatya.

 

Mu kirayiro kya Besigye ne Lutale kyakubiddwa munnamateeka waabwe Morgan Muhindo, abantu bonna be banditumye okuwa Gen Muhoozi ebiwandiiko batyayo wadde okussaako omukono.

 

Mu mateeka omuntu atutte ekiiwandiiko kya kkooti abeera alina okussaako omukono okukakasa nti akiwaddeyo era n’akikutte n’assaako omukono okukakasa nti akifunye,kyokka Besigye agambye nti abantu be banditumyeyo batya okutwalayo empapula olw’obulamu bwabwe n’eddembe lyabwe.

 

Muhindo agambye nti abantu abagezaako okutwalira Gen. Muhoozi ebiwandiiko abasiba n’okubatuusaako obulabe oba okubaggalira. Yawadde ekyokulabirako kya Erias Lukwago eyali agezaako okumutwalira ebiwandiiko ,ne bamuggalira.

 

Muhindo era yeesigamye ku bubaka bwa Gen Muhoozi ku mukutu gwa X bw’azze asaako ku nsonga za Besigye ne Lukwago era bataddeko kkoppi z’obubaka obwo okukaksa bye boogera.

 

Basinzidde awo ne bagamba nti okuwa Gen Muhoozi ebiwandiiko nga bayita mu mpapula za mawulire kye kisinga.

 

Empapula endala za musango gwe basSaamu nga bawakanya okuzZaayo munnamateeka Martha Karua ne bamulangirira nti takkirizibwa kudda mu Uganda.

 

Bino we biJJidde nga Dr Besigye ali mu ddwaliro e Mulago gy’ajjanjabirwa oluvannyuma lw’okuzirikira mu kkooti wiki ewedde bwe yali awakanya omulamuzi Emmanuel Baguma okuwuliriza obujulizi ng’ate tebalinaawo bannamateeka baabwe mu kkooti.

 

Baakwatibwa mu 2024 okuva e Kenya ku misango gy’okulya mu nsi olukwe bwe baakola enteekateeka z’okuvuunika gavumenti ya Pulezidenti Museveni,ssaako okubeera n’ebyokulwanyisa bya magye mu bukyamu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
newvision
Mawulire
Mpapula
Bukedde
Obeid Lutale
Kiiza Besigye