Omulamuzi akulira kkooti ento e Mukono Roselyn Nsenge agobye emisango esatu munnamagye Maj. Mark Wanyama gye yali yaggula ku musuubuzi Jackson Twinamasiko mu bukyamu.
Maj Mark Wanyama ngayogeramu n'omuwabi wa gavumenti.
Bw'abadde awa ensala ye, omulamuzi Nsenge agambye nti kkooti ye tesobola kugenda mu maaso na misango gino, kubanga abantu bano bombi era balina omusango gw'engassi( Civil suit) kwani nnannyini ttaka mu kkooti enkulu e Mukono ogulinze okusalwa nga 14 omwezi ogujja kubanga ensala ye esobola okutaataaganya ate omusango oguli mu kkooti enkulu.
Omulamuzi Nsenge yeesigamye ku kusaba kwa puliida wa Twinamasiko Steven Turuyatunga, kwe yakola ng'ayagala kkooti eyimirize okuwulira emisango gino kubanga kikontana n'amateeka.
Wabula, omuwaabi wa gavumenti Collins Ouma kye yawakanya, kyokka omulamuzi mu kuwunzika akkiriziganyizza ne Tulyatuga era bw'atyo n'agoba okuwulira emisango gino..
Omusuubuzi Jackson Twinamasiko ng'ali mu kaguli mu kkooti e Mukono.
Nsenge era yeesigamye ku kiwandiiko kya kkooti enkulu kye yayisa ekikugira omuntu yenna okusaalimbira ku ttaka lino ( Court Order) ekyaweebwa omusuubuzi Twinamasiko okutuusa nga kkooti enkulu esazeewo, ssaako n'okutegeeza nti okwemulugunya oba emisango gyonna munnamagye Maj Wanyama bye yateeka mu kkooti eno, kkooti enkulu esobolera ddala okubiwulira mu musango oguliyo.
Tulyatuga asiimye ensala ya kkooti n'ategezza nga kino bwe kibadde kirudde nga kibataataaganya kubanga babadde bamalira obudde bungi mu kkooti ento ate nga simwebabadde balina okubeera.
Ye Jabar Luyima looya wa Maj Mark Wanyama ategeezezza nga bwe batamatidde na kusalawo Kwa kkooti era bagenda kujulira.
Munnamagye ono abadde yaggulako omusuubuzi Twinamasiko emisango esatu okuli ogw'okusaalimbira ku ttaka lye erisangibwa ku kizinga ky'e Mbeeya mu ggombolola y'e Mpunge mu disitulikiti y'e Mukono, okusiguukulula empaanyi, n'okwonoona ebintu, era ng'ono okukwatibwa yali agenze ku kitebe kya bambega okulondoola emisango gye yali yateekaayo wabula nga tegitambula.