KANSALA Enock Tumisiime akiikirira Mutungo VII akukkulumidde abatuuze abaliimisa abakulembeze mu budde bw’ekiro ne bamansa obucaafu buli webasanze gw’agamba nti ayinza okubaviirako okukwatibwa endwadde eziva ku bucaafu.
Ategeezezza nti abantu bakozesa nnyo ekiseera ng kino nga enkuba etonnya ne basuula kasasiro mu myala n’ekigendererwa ky’enkuba okumukuluggusa kyokka gyebiggwera nga aggweredde mu myala ne mu makubo.
Kasasiro ayogerwako
Tumisiime ategezezza nga ekitundu ky’akulembera bwekiri eky’omugotteko nga amayumba ga kumukumu nga kino kiwa abatuuze bamu omwagaanya okuweta obusonda nga bamaze okumansa kasasiro nebatakwatibwa ky’agamba nti kino kibateeka mu kusomoozebwa nga abakulembeze.
‘’Omulimu gw’okukungaanya kasasiro ekitongole kya KCCA kyagweggyako nekigulekera ebitongole eby’obwanannyini naye bino nabyo bikyalina okusomoozebwa okutali kumu okubalemesa okumala obulungi kasasiro omu mu bantu’’. Tumusiime bw’ategezezza.
Asabye ab’ekitongole kya KCCA ekivunanyizibwa ku ntekateeka y’ekibuga okuvaayo basomese abantu ku ngeri gyebayinza okukwatamu kasasiro ono nga emu ku ngeri y’okwetangiramu obulwadde.
Asabye n’abavunaanyizibwa ku kibuga okuteekawo obukuumi obw’enjawulo okutangira abantu abamansa kasasiro era singa bakwatibwa bavunanibwe n’abalAla bayigireko