BANNAKIBIINA kya NRM mu disitulikiti ye Wakiso baanirizza Pulezidenti Museveni mu ssanyu bwabadde akuba olukungaana lwe olusemba mu disitulikiti ye Wakiso.

Abakyala abawagizi ba NRM nga basanyukira Pulezidenti Museveni
Ono ng'ali ne mukyala we era minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Museveni baniriziddwa ssabakunzi wa NRM mu Uganda Rosemary Nansubuga Senninde, sipiika wa Paalamenti Anita Among, ssentebe wa munisipaali ye Nansana Maseruka Mutte, omumyuka asooka ow'ekibiina kya NRM Haaj Moses Kigongo ne bannakibiina kya NRM abalala.

Abakyala ba Nrm nga basanyukira Mzee
Museveni olukungaana alukubye ku kisaawe kya Kawanda Research Institute mu munisipaali ya Nansana era ng'asisinkanye abantu okuva mu Nansana munisipaali, Ntebe Munisipaali, Kyaddondo East, Busiro East ne Busiro North.
Ono abakubirizza okubaako bye batandikawo okusobola okugoba obwavu.