Kitalo! Omu ku baalumizibwa sawuna bwe yayabika ku Buziga Country Resort e Makindye mu Kampala, amaze n'afiira mu ddwaaliro e Kiruddu!
Hajjati Mansituula 68 ,nga y'abadde amyuka, ssentebe wa LC 1 e Katuuso zzooni e Buziga Makindye afudde, oluvannyuma lw'ebiwundu eby'amaanyi ebyamutuusibwako omuliro gwa sawuna bwe yali yakayabika.
Akabenje kigambibwa kaali ku woteeri ya Buziga Country Resort e Makindye munisipaali mu Kampala, Sauna bwe yayabika akawungeezi n'erumya abantu basatu abaalimu nga bonna bakyala.
Abalala abaalumizibwa ne baweebwa ebitanda kuliko, Zahara Nakaweesi 39 ng'ono yafuna ebisago n'amenyeka okugulu ne Isha Maamaraamu.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala ,Luke Oweyesigyire , akakasizza okufa kya Hajjati Mansituula n'agattako nti abalala , bakyagenda mu maaso n'okufuna obujjanjjabi.