EYAVUGA Kabaka Mutebi nga yaakakomwo mu ggwanga nga Ssaabataka n’okutambuza obubaka bwe, Ssaalongo James Ssentamu Ssande afudde.
Ssaalongo James Ssentamu yafiiridde mu maka ge e Masanafu Kinoonya zzooni mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri oluvannyuma lw'okumala akaseera ng'atawaanyizibwa kookolo w'omu mimiro.
Omugenzi Ssande Bw'abadde Afaanana.
Nnaalongo Grace Tamuzadde mukyala w’omugenzi yagambye nti bba amaze akaseera nga atawaanyizibwa kookolo era embeera yatabuse ku saawa 7:00 ogw'ekiro bwe yakolodde ekisusse ne bagezaako okukola enteekateeka ezimutwala mu ddwaaliro wabula n'akutuka.
Yagambye nti kokolo yazuulwa mu 2024 era ne bagenda mu malwaliro ag’enjawulo okufuna obujanjabi nga kino kyavaako Ssande okusaakala obulago n’okukaluubirizibwa mu kussa.
Ssande y’omu ku bantu abaabuulira Bukedde ebikwata ku bulamu bwa Kabaka Mutebi mu mboozi ezaawandiikibwa ku mazaalibwa ge bwe yalaga engeri gye yavugangamu mmotoka okumutwala okusisinkana abantu be wamu n’okutambuza obubaka.
Ssaalongo Ssande waakuziikibwa ku butaka bw’essiga lya Kaddu Ssekayuba mu kika ky’Embogo e Ssenge mu Wakiso.