OMULIRO ogubalukawo mu bitund bya Kampala eby’enjawulo gutadde abasuubuzi ku bunkenke olw’okufi irwanga emmaali eri eyo mu bukadde.
Ekisinze okubeeraliikiriza kye ky’okuba nti abasinga ssente ze bakozesa bazeewola mu bbanka, mu bibiina ne mu bammanerenda nga kati boolekedde okusibwa mu makomera olw’okulemererwa okusasula.
Ebiseera bino kizibu wiiki bbiri okuyitawo nga tewali muliro gukutte mu kibuga ate ng’ebiseera ebisinga abazimyamwoto we batuukira ng’emmaali esinga emaze
okutokomoka.
Omuliro ogwakasembayo gwakutt mu kiro ekyakeesezza olwa Mmande nga gwayokezza ebbajjiro lya Canan Wood and Metal Works e Butabika mu munisipaali
y’e Nakawa. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yakakasizza omuliro ogwatokomokeddemu ebintu eby’enjwulo n’agamba nti oluusi
guva ku bulagajjavu bw’abantu nga n’awamu balaba gutandise
okukwata ne balemwa okukubira poliisi mu budde, okujja okuguzikiza.
Yagambye, oluusi omuliro basooka kugunyooma nga balowooza bajja kusobola okuguzikiza so nga tebaba na busobozi wadde obukugu obuguzikiza.
Omu ku babadde bakolera mu bbajjiro eryayidde ayitibwa Simon Mulumba yategeezezza nti omuliro gwakutte ku ssaawa 4:00 ez’ekiro, wabula tebannamanya
kwe gwavudde.
Ebyasaanyiziddwaawo kuliko; embaawo, enzigi, ebyuma ebibajja
n’ebintu ebirala. Mmeeya w’e Nakawa, Paul Mugambe yagambye nti oluusi omuliro guva ku bantu abafumba ne beerabira okuzikiza essigiri
kwe bafumbira n’asaba Gavumenti eyongere amaanyi mu nteekateeka y’okubangula
abantu mum bukodyo bw’okuzikiriza omuliro.
Kansala omukyala ow’e Butabika, Agnes Andinda yasabye abantu bulijjo okubeera abeegendereza era beekebejja ebintu byonna ebyekuusa ku muliro baleke nga bitereezeddwa bulungi.
AB’OMU NDEEBA BAKYASOBEDDWA Ekitundu ekirala abasuubuzi gye bakaabye okuva omwaka lwe gwatandika y’e Ndeeba. Eno omuliro gwakookyayo enfunda ssatu nga olwakasembayo gwakutte akatale k’oku Leerwe. Kigambibwa nti omuliro gwatandise ku ssaawa 3:30 mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano ne gwokya obuyumba bw’ebibaawo obusoba mu 50 abantu mwe babadde bakolera. Ssentebe w’abasuubuzi b’omukatale kano, Godffrey Kizito Ssaalongo yagambye nti, bakyasobeddwa ku kivaako omuliro mu Ndeeba n’asaba bakulembeze ne gavumenti okuvaayo okubakwasizaako
bazzeewo emmaali yaabwe.
Akulira ebyokwerinda mu zooni ya Kironde, Steven Butoto, yagambye,
okusinziira ku baabaddewo, waliwo abavubuka abaabadde balwanira omuwala
mu kibanda kya fi rimu abamu ne bagobamu bannaabwe. Abaafulumye baasuubizza okwesasuza, nga kiteeberezebwa nti be baakumye omuliro. Wabula waliwo abagamba nti omuliro gwabaluse omulundi gumu ekiraga nti gwakoleezeddwa omuntu ow’ettima. Ssentebe wa zooni ya Kironde, George William Ssambwa, agamba omuliro guno bateebereza nti gubamutegeke olw’engeri gye gulandamu amangu nga ssinga teguba
mutegeke osanga gwandibadde gukwata mpolampola ne basobola n’okuguzikiza.
Guno mulundi gwakusatu omuliro okukwata emmaali y’abasuubuzi n’esaanawo mu
Ndeeba mu bbanga lya wiiki ssatu zokka; Ogwasooka gwaliwo mu kiro kya Paasika nga April 20, 2025, obuyumba bwa sipeeya 12 bwe bwakwata omuliro emmaali
yonna n’etokomoka.
Waali waakayita wiiki emu, mu kiro kya Ssande nga April 27, 2025 omuliro era oguteeberezebwa okukumibwa mu bugenderevu ne gukwata ebibanda by’embaawo
emmaali y’abasuubuzi n’esaanawo.
Wabadde waakayita wiiki bbiri, ate omuliro ne gukwata akatale k’oku Leerwe nga May 15, 2025 k
OMULIRO OGUZZE GUSAANYAAWO EMMAALI Y’ABASUUBUZI
October 25, 2024, omuliro
gwakwata mu Cakala zzooni e
Kamwokya ne mufi iramu omuyizi
wa S2.
December 2024, omuliro gwakwata
mu Muluka gwa Makerere I.
March 11, 2025, omuliro
era gwakwata mu muluka gwa
Makerere I ne gwokya obuyumba
obutunda embaawo, sipongi,
ebizimbisibwa n’ebirala.
May 6, 2025, Supamaketi
ya Bosco Muzirango e Busega,
yakutte omuliro ebintu bya
buwumbi ne bitokomoka.
March 5, 2025, Ekizimbe kya
Sunrise Arcade kyakwata omuliro
ne mufi iramu n'abantu.
February 1, 2025, omuliro
gwakwata mu Ssebina zzooni mu
Makerere III.
December 17, 2024, Edduuka
ly’essimu mu Ssebina zzooni
e Kawempe lyakwata omuliro ne
lisaanawo.
November 10, 2024: omuliro
gwakwata akatale ka Kizito mu
Sebina Zooni mu muluka gwa
Makerere III e Kawempe