PULEZIDENTI Museveni asabye abantu okwewala okukozesa obubi ssente za PDM n'obutakkiriza muntu yenna kuzizzannyiramu oba okubaako ze babatoolako
Yasinzidde Nsereko zone mu Nakaseke Town council mu disitulikiti ya Nakaseke ng'alambula Aida Nalubowa eyafuna ssente za PDM n'agula embizzi bbiri n'emmere yaazo ezimufudde ow'enjawulo n'agamba nti ssente zino zajja bantu abaliko emirimu gye bakola okuzeewola ku magoba amatono beekulaakulanye
Yasabye abantu okukomyawo NRM eyongere okubayiwamu ensimbi zino buli mwaka ate nga kwongerwako obungi gye bujja ng'ebyenfuna byongedde okulongooka.
Nalubowa yagambye nti bwe yafuna akakadde yagulamu embizzi enzungu bbiri ku 200,000 buli emu ezaasigalawo n'agulamu emmere yaazo n'ekirugo ne ziwaka emu n'ekubawo abaana 10 endala 8.
Yatundako obubizzi 13 ku mitwalo 10 buli kamu n'ayiikamu 1,300,000/ ze yali takwatamgako n'ayongera of okulunda enkoko z'ennyama ezimutuusizza ku birungi.
Yasabye pulezidenti amuddukirire agule ettaka alimireko n'okulundirako, okumuwa entambula n'amazzi.
Museveni yamuwadde obukadde 10 okugula tukutuku, obukadde obulala 10 okugula yiika y'ettaka n'asuubiza n'okumuleetera abakugu bamutuseeko amazzi.
Abalimi abalala abawera 10 Museveni nabo yabongedde akakadde okwongera mu mirimu gyabwe.
Baminisita omwabadde Muluuli Mukasa,, Kabuye Kyofatogabye, Evelyn Anite, Alice Kaboyo ssaako ssabawandiisi wa NRM Rose Namayanja Nsereko, Godfrey Kiwanda Ssuubi n'ababaka ba palamenti mu Nakaseke beetabye ku mukolo.