Kigozi eyakulira ku nguudo avuddeyo okulwanyisa siriimu mu Ghetto

“ENO mu Ghetto abantu bangi bapangulukufu ate ng’ekirungi nange ndi mupangulukufu nga bbo, ekitegeeza nti nsoboleraddala okubakkirizisa okufaayo ku bulamu bwabwe okubeewaza nze kye nnayitamu.Mu ghetto, bw’olwala twanguyirwa nnyo okusonda ssente ezikuzza mu kyalo ewammwe okusinga okulowooza ku ky’okufuna obujjanjabi”, bwatyo Fred Kigoziamanyiddwa nga Red Angel mu ghetto z’e Seguku bw’ayogeza amaanyi ku bumalirivu bw’alina okulaba ng’alwanyisa okusaasaana kw’akawuka akaleeta mukenenya.

Kigozi eyakulira ku nguudo avuddeyo okulwanyisa siriimu mu Ghetto
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

“ENO mu Ghetto abantu bangi bapangulukufu ate ng’ekirungi nange ndi mupangulukufu nga bbo, ekitegeeza nti nsoboleraddala okubakkirizisa okufaayo ku bulamu bwabwe okubeewaza nze kye nnayitamu.
Mu ghetto, bw’olwala twanguyirwa nnyo okusonda ssente ezikuzza mu kyalo ewammwe okusinga okulowooza ku ky’okufuna obujjanjabi”, bwatyo Fred Kigozi
amanyiddwa nga Red Angel mu ghetto z’e Seguku bw’ayogeza amaanyi ku bumalirivu bw’alina okulaba ng’alwanyisa okusaasaana kw’akawuka akaleeta mukenenya.
Oluvannyuma lw’okuganza omukyala omukulu okumala emyaka 2, Kigozi yafuna akawuka akaleeta mukenenya nga n’ekyasinga okumuluma y’embeera mwe yamanyira amawulire g’okulwala kwe agajjira mu mesegi eyali egamba nti, “Ssaali musiru okukulabirira ng’omwana omuto, olowooza be nzaala sibamanyi?
My mission is finished (ekitegeeza nti ekigendererwa kyange kiwedde)”,
ekintu ekyamumenya ennyo omutima olwo n’asigala nga yeewuunya abantu abalina emitima egitasassira.
Leero, Kigozi yeeyita “HIV Ghetto Youth Sacrifice” ekivvuunulwa nti ssaddaaka y’abavubuka ba ghetto eri siriimu.
Mu kwogera akkaatiriza nga bwe yasalawo embeera y’obulagajjavu bw’abavubuka okwetooloola eggwanga naddala abali mu ghetto eyamutuusa waali kati
nga bw’erina okukoma ku ye. Ono aweza emyaka 30 newankubadde ng’obulwadde
buno yabufunira ku myaka 16 era ng’olugendo lwe ne pulaani y’okulwanyisa okusaasaana kwa siriimu mu ghetto abinyumya bwati.
EKYANTUUKAKO SIKYAGALIZA MULALA
Bw’oyogera ku ghetto, abantu bangi balowooza nti eyo waliyo ababbi, banywi b anjaga n’ebintu ebibi byonna bye basobola okulowoozaako olw’embeera
eriyo, oboolyawo batuufu naye ate ssi buli muntu ali mu ghetto nti bw’atyo bwali. Awo nno we neebuuliza nti obang’omuntu takwagala olw’embeera gy’olimu naye ate bwe kizuulibwa ng’olina akawuka akaleeta siriimu!

Olwo tobeera mufu mu maaso ge! Nze kye nnasooka okukkiriza kwe kubeera nti mu ghetto abantu batono nnyo abavaayo ne boogera nti balina akawuka.
Awo nno we nagambira nti nze kanfuuke omu ku bbo ntaase eggwanga n’abaana ba ghetto okutwalira awamu.
Bwe nategeera nti ndwadde, nakkiriza nti eyo ssi y’enkomerero y’obulamu
bwange era newankubadde ng’eddagala nali nditandise nakimanya nti ate waliyo bannange abali eyo abayita mu mbeera y’emu kyokka nga tebalina buyambi
bwonna bwe bafuna.
Nasalawo ne hhamba nti mu bulamu mwe tuyita osobola
okuyimirira n’ofuuka omukisa eri banno era nga kino kye kyampa amaanyi n’obuvumu.
NNINA ESSUUBI
MU BAANA BA GHETTO
Olw’okusoomooza kwe nnayitamu ng’omwana w’oku luguudo, natunuulira obulumi
obwali mu ghetto obw’abalwadde ba siriimu olwo ne nsalawo nti ‘baccali’ bange tebajja
kudda mu kyalo wabula okusigala mu kibuga ate nga balamu.
Mu ghetto mulimu abalwadde bangi kyokka ng’abo abakola alipoota ku bulwadde bwa siriimu eno tebatunulayo.

Kino kye kyansoomooza ne nsalawo okutandika okulwanirira bavubuka bannange.
Si kyangu kutandika wabula nakwatagana n’abakulembeze abamu ne ntandika okutambula mu ghetto. Natandika mpola okukuhhaanya abavubuka naye olw’okuba nti baali bandabyeko, bangi baali bantunuulira ng’ali mu
muzannyo.
Ekiseera kyatuuka ne batandika okulaba nti nali ku mulamwa era nange awo we nasalirawo okuggulawo ekitongole kya “Red Angel Aids Foundation” ng’okuyita mu kitongole kino tutambula nju ku nju mu ghetto nga tukubiriza abantu okwekebeza
n’okwettanira obujjanjabi eri abo ababeera basangiddwa n’akawuka akaleeta obulwadde
bwa siriimu.
Ekintu kye nkola mu ghetto sikyangu kubanga n’abeebyobulamu abasinga eno batyayo olw’okututunuulira ng’abazzi b’emisango sso nga n’olulimi lwe twogera bangi tebalutegeera bulungi. We tutuukidde leero nga naakatuukirira abantu abawerera
ddala 200 era ng’ekikwewuunyisa nti nze omwana eyakulira ku luguudo, n’abantu abakulu bampita taata nga kye ntunuulidde ennyo kwe kulaba ng’amaziga n’ennaku
mu ghetto eva ku bulwadde bwa mukenenya ng’ekendeera n’okulaba
ng’eggwaawo.
Mu kukola kino nsanze okusoomoozebwa kw’okubeera nti abantu b’omu ghetto bangi naddala abalwadde, eddagala balikima naye nga tebalina we balitereka ekibaleetera okulimira obubi era bangi bafudde.
Mu kino tulina obwetaavu bw’amaka abaana b’omu ghetto we basobola okukuumira eddagala lyabwe n’okukuhhaanira okufuna emisomo