Kenzo atadde obukwakkulizo ku ssente z’abayimbi okwewala okuzibulankanya

EDDY Kenzo atadde obukwakkulizo ku ssente z’abayimbi okwewala okuzibulankanya.

Kenzo atadde obukwakkulizo ku ssente z’abayimbi okwewala okuzibulankanya
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Haruna Kasolo #Eddy Kenzo #Uganda National Musicians Federation #UNMF #SACCO

EDDY Kenzo atadde obukwakkulizo ku ssente z’abayimbi okwewala okuzibulankanya.

Ssente ezoogerwako ziri obuwumbi 13 ezaasabwa abayimbi okweggya mu buzibu, okwenaazaako ennaku, okukola situdiyo n’ebirala.

Minisita Haruna Kasolo omubeezi ow’ebyensimbi era avunaanyizibwa ku bibiina by’obwegassi yategeezezza Bukedde nti abayimbi b’ekibiina kya Kenzo baabawadde obuwumbi 5 ezibatuukako wiiki eno oba ejja ate ng’obuwumbi 3 baazisaasaanyizza ku mirimu gyabwe emirala.
Kenzo y’akulira ekibiina kya Uganda National Musicians Federation (UNMF) ekyasaba ssente.
Kyokka omuyimbi Hanson Baliruno akola nga nnampala wa UNMF yategeezezza nti ssente bagenda kuzifunira mu SACCO yaabwe eyitibwa ‘Uganda National Musicians’ Federation SACCO’.

Emitendera n’obukwakkulizo bw’okuzifuna, olina kubeera muyimbi ate n’owaayo ennyimba zo okukola ng’omusingo nga ssinga ssente zikulema okuzzaayo, ekibiina ekikuwoze nga kitwala ennyimba zo. Ekirala ennyimba zo olina okuba nga waziwandiisa ne UPRS okukakasa nti ddala zizo.

Omuwendo gwa ssente ze weewola gusinziira ku maanyi g’ennyimba zo.
Baliruno yagambye nti ssente zino bagenda kuzanjula mu SACCO olwo nayo erage obudde abaagala okuzeewola we banaatandikira okuzisaba.

Baliruno okunnyonnyola bino yabadde adda mu muyimbi munne King Saha eyasoose okugamba nti, ssente ezo za kulya buli. “Ekibi ennyo kwerabira bannaabwe ate nga mu bivvulu babayita okubayimbirako. Naye Mukama alaba era ky’osiga ky’okungula,” Saha bwe yagambye.

Baliruno yagambye nti abantu nga Saha abalowooza nti ssente za kulya, bakitegeere nti ssente bwe zigenda mu SACCO ebeera bbanka era tosobola kubuzaabuza ssente za bbanka.

PHOEBE NASSOLO

Ono yasanyuse bwe yawulidde nti ssente zifulumye n’agamba nti bulijjo z’alinze kyokka ate yennyamidde nti yakitegeeredde mu mawulire nga bakama be tebaakimugamba mu bujjuvu. Naye kati alinze kumuyita.

SOPHIE GOMBYA

Ensonga z’abayimbi zansukkako nga ndaba birimu kigoye weezinge mungi. Nasalawo mbiwummule wadde nali mukulembeze mu UMA naye we naviirayo nga ndaba omuliro gunsusseeko. Kati nze nfumba mmere yange era nnina emirembe mingi n’ebya ssente ezo ze boogerako nze essaawa eno sibimanyi.

Nsuubira zigenda kwongera okwawula abayimbi nga bwe waliwo abafunye n’abatafunye

MANEJA ROGER LUBEGA

Ono ye maneja wa Spice Diana (Hajara Namukwaya) era yagambye nti ye ne Spice tebaagala ssente ezo kabasigale ku z’abawagizi baabwe era bo tebandiwagidde muntu kuzeewola kubanga bwe zimulema ebintu bye biyinza okutwalibwa.

GEOFFREY KAYEMBA SOLO (mubaka wa Bukomansimbi South)

Tusooke twebuuze ani agenda okufuna ssente ezo era aweebwa zaaki. Bwe zibeera nga za federation ate nga yaakatandika ate nga n’okugiwandiisa lwali lutalo, awo waliwo obuzibu obujja.

 

Oyinza okwekanga nga zizze lwa byabufuzi. Nze ndowooza nti ssente ezo ze ziyinza ate okutabula federation singa wabaawo abanaazifuna ate abalala ne batafuna.
Abayimbi basinga kwetaaga kubakolera ku tteeka eritaasa ebiyiiye okusinga ssente kubanga ebintu bye bakola birimu nnyingi okusinga ssente ezo.

Ekizibu ky’abayimbi butakolagana ate bw’obongera ssente obeera oyongedde kubatabula.

SSENGA SSEBBANGA

Ono kazannyirizi era agamba nti ssente zimukwatako wadde ng’ekibiina ekyo tekyamuyita. Agamba nti asuubira nti obuwumbi 5 obusigaddeyo nga kwe kusuubirwa okubagulira n’ekizimbe kya bannabitone mw’anaafuna nga naye bamuwaddeko w’ayiiyiza emirimu gye naye zino ezaafulumye talina ssuubi nti anaafunako.

TAATA SAM

Kazannyirizi munne eyeeyita Taata Sam yategeezezza nti ebya ssente ezo abyesunze kubanga ssente za Gavumenti atera okuzifunamu era ez’Emyooga yazifuna n’akolamu bye yakola.

HANNINGTON BUGINGO

Ono kazannyirizi mu Fun Factory. Agamba nti ekikulu kya byonna y’engeri gye bagenda okugabanyamu ssente zino. “Abalina okufuna ssente zino bagenda kuzifuna batya era nga bayita mu mitendera ki?” Ekyo kye kisinga obukulu olw’ensonga ssente ezo ssi za Gavumenti wabula za muwi wa musolo.

KABAKO

Ekisookera ddala siri mu kibiina kya Kenzo era sisuubira kufuna yadde 100/-.

Ssente nga bwe bazifunye bwe bagenda okuzirya ne bakazi baabwe.

Abasinga kw’abo obuvunaanyizibwa balina butono era sisuubirayo muntu yenna agenda okufuna mu ssente ezo.

Ekisembayo, njagala bajjukire ekintu kimu nti abantu nabo babalaba kuba be bawa omusolo gavumenti gw’ediibuuda.