Minisita wa Micro Finance, Kyeyune Haruna Kasolo era nga ye ssentebe wa NRM mu
Kyotera, akyafeffetta abawagizi b’oludda oluvuganya, abayingize NRM ng’aluubirira okuddamu okweddiza ekifo ky’omubaka w’e Kyotera mu 2026.
Ennaku zino atambula ne ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera, Patrick Kintu Kisekulo
eyali yasala eddiiro n’adda mu NUP. Kisekulo yali yatabuka ne Kasolo, era mu kalulu ka 2021 yawagira John Paul Mpalanyi ne bamegga Kasolo.
Wabula nga twolekera 2026, Kisekulo yazzeemu n’asala eddiiro n’adda mu nkambi ya
Kasolo, era agenda amuyamba okuzza abantu abaali baava mu NRM. Kasolo yayanirizza abantu abasoba mu 100 mu muluka gw’e Kibutamu mu ggombolola ye Lwankoni.
Bano okubadde ne Ssaabakunzi wa NUP e Kyotera, Abdu Kikomeko, baakutte akazindaalo ne balangirira bwe basazeewo okuwagira NRM ne Minisita Kasolo mu kulonda okujja! Kisekulo yagambye nti Kyotera efiiriddwa nnyo mu kiseera nga ye ne banne beekulubeeseza ku ludda oluvuganya nti kuba Minisita Kasolo yekka gwe balina ava mu kitundu naye abadde yabasuulirira olw’okuba baamusuula mu kalulu.
Yagasseeko nti alabidde ennaku ku ludda oluvuganya n’akigeraageranya ku bufumbo nti yanoba n’alaga mu bufumbo awatali mirembe kwe kusalawo adde mu mirembe. Minisita
Kasolo yabaanirizza okumwegattako okutwala Kyotera ne NRM mu maaso kwossa okuwagira Pulezidenti Museveni.