GAVUMENTI eragidde amassomero n'amatendekero gona ag'obuyigirize okwetaba mu kulongoosa kw'eggwanga okw'obuwaze okunabeerawo omwezi guno nga guggwako
Ssabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja bwategeezeza bwabadde mu lukungaana lw'abamawulire ku ofiisi ye mu Kampala.
Nabbanja asabye abakulembeze b'ebitundu bonna okwetoloola eggwanga okwenyigira mu kawefube ono nga balungamya okulongoosa kuno era bakakase nti kasasiro anakunganyizibwa ayoolebwa
Alagidde abakulembeze b'ebitundu okukakasa nti bateekawo ebikozesebwa ebimala n'ebimotoka ebinasomba kasasiro ku lunaku lw'okulongoosa
Nga eggwanga lyetegekera olunaku lw'okulongoosa okw'omulundi ogw'okussatu olunabaawo ku Lw'omukaaga olusemba omwezi guno nga 26 September e Hoima
Ategeezezza nti amateeka gonna agateekebwawo okulungamya olunaku luno bwegalina okugoberwa omuli obutakiriza ntambula yonna mu saawa z'okulongoosa nga omuntu yenna atambula mu ssaawa ezo alina okubeera n'ebiwandiiko ebinyonyola lwaki atambula omuli abalwadde, abagenda ku kisaawe ky'ennyonyi
Meeya wa Hoima Edward Isingoma ategeezeza nga bwebakoze ekisoboka okwetegekera olunaku luno wabula n'alaga obwetaavu bw'ebimotoka ebisomba kasasiro mu kibuga kino n'asaba Gavumenti okubongera ensimbi okulaba nga bafuna ebimmotoka ebimala okusomba kasasiro anakunganyizibwa ku lunaku olwo
Amyuka omwogezi wa poliisi Diana Nandawula asabye bannayuganda okugondera amateeka okwewala okufuna obuzibu bwona nabeby'okwerinda
Nandawula ategeezezza nti omuserikale waabwe eyakuba owa booda esasi mu kulongoosa okwasembayo nti ali mu kkooti avunaanibwa era nga ku mulundi guno boogedde n'abasajja baabwe nebabasaba okwewala okukozesa amaanyi agasukiridde