Abantu abawera nga 120 be bayooleddwa mu bikwekweto ebyenjawulo mu Kampala ne Wakiso.
Ekimu ku bikwekweto, kibadde Lusaka, Nkere, ne Nabisaalu e Makindye nga bayodde 70.
E Kibuli, Nsambya, Bunga, Muyenga mu Makindye nayo bakutte 33 .
E Nansana mu bitundu omuli Gganda, Nsumbi, mu Wakiso, poliisi eyodde 20.
Waliwo ebintu ebirowoozebwa okuba ebibbe ebizuuliddwa, enjaga n'ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti bikoleddwa mu bifo ebyobulabe , abatuuze gye baludde nga beemulugunyako era bali mu kubasunsulamu.