Katikkiro Mayiga awadde abantu b'essese ennyingo nnya okulwanyisa Mukenenya

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde abantu be Ssese ebintu Mukaaga bye basaanye okuteekako essira mu kulwanyisa obulwadde bwa Siriimu.Mu byabagambye  byebalina okukola kuliko okutya obulwadde buno obwa mukenenya kuba bwa bulabe era butta, okwekebeza kubanga olina bwabeera nabyo naatakeberwa,ayinza okufa mu bwangu nga tamanyi.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera eri abantu b'e Ssese
NewVision Reporter
@NewVision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde abantu be Ssese ebintu Mukaaga bye basaanye okuteekako essira mu kulwanyisa obulwadde bwa Siriimu.
Mu byabagambye  byebalina okukola kuliko okutya obulwadde buno obwa mukenenya kuba bwa bulabe era butta, okwekebeza kubanga olina bwabeera nabyo naatakeberwa,ayinza okufa mu bwangu nga tamanyi.
Bino abyogeredde ku mwalo e Kachanga ku kizinga ky'e Buuvu mu ggombolola ye Bufumira e Kalangala mu ssaza ly'e Ssese gy'atandikidde okusomesa Abassese ebikwata ku bulwadde bwa mukenenya.

Katikkiro Mayiga ng'ayanirizibwa e Kakyanga

Katikkiro Mayiga ng'ayanirizibwa e Kakyanga

" Bwomala okuzuulwamu obulwadde Mira eddagala lijja kukuyamba okutambuza obulamu,obeerewo ekiseera nga bwokola emirimu gyo," Mayiga bwagambye.
Mu birala abasabye okulya obulungi naddala nga bwebali ku nnyanja,balye ebyenyanja,enva endiirwa n'emmere.

Baleme kwekubagiza wadde nga bali mu bulwadde buno ate Abatasobola kubeereraawo nga tebagenze mu bikolwa by'okwegatta basaanye bulijjo bakozese Kkondomu.

Mayiga yabadde ne Minisita w'ebyobulamu mu Buganda, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Akulira ekitongole kya UNAIDS mu Uganda,  Jacqueline Makokha, Dr. Nelson Musooba Akulira Uganda Aids Commission n'abalala agambye ab'ebizinga bino nti bwebanabeera abalamu kyakubasobozesa okwegatta n'ebitundu bya Buganda ebirala okugikulakulanya okudda ku ntikko.

Katikkiro Mayiga n'abakulembeze e Kalangala

Katikkiro Mayiga n'abakulembeze e Kalangala

Ku mwalo guno yayaniriziddwa Omwami w'essaza ly'e Ssese, Augustine Kasirye, Omubaka wa gavumenti eyawakati e Kalangala Najjuma Ssenkole, Omubaka Omukyala owe Kalangala Hellen Nakimmuli n'abakulembeze abalala mu kitundu kino.
Alambuziddwa eddwaliro Kachanga HCIV okulaba embeera mweriri era n'alambula ku batuuze mu kitundu kino

Katikkiro Mayiga ku mazzi

Katikkiro Mayiga ku mazzi