4 batutte Full Figure ku poliisi

ABANTU bana be baakavaayo ne baggula emisango ku Jeniffer Nakanguubi amanyiddwa nga Full Figure.

4 batutte Full Figure ku poliisi
By Ignatius Kamya
Journalists @New Vision
#Amawulire #Full figure #Poliisi #Kutwala

ABANTU bana be baakavaayo ne baggula emisango ku Jeniffer Nakanguubi amanyiddwa nga Full Figure.

 

Mu bamugguddeko emisango kuliko omuyimbi Catherine Kusasira eyamuggulako emisango egy’enjawulo omuli n’ogw’okumuvuma. Omulala ye Nnaalongo Kitone, nga naye yamuggulako gwa kumuvuma n’okumuvvoola.

Kusaasira bw'afaanana.

Kusaasira bw'afaanana.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti emisango gino gyaggulwawo ku poliisi ez’enjawulo okuli ey’e Katwe, Kajjansi ne Kawempe.

 

Fayiro y’e Kawempe bamulanga kutwala ssente mu lukujjukujju bwe baamupangisa okuyimba ku kivvulu n’atalabikako. Kati ono ayagala amuliyirire obukadde 50 olw’okumufiiriza ssaako obudde ssente bwe zimazeeyo.

 

Onyango yategeezezza nti fayiro zonna ziyitiddwa nga mu kiseera kino ziri ku kitebe kya poliisi ekya Kampala Metropolitan abantu gye balagiddwa okutwala okwemulugunya kwabwe ku Full Figure.

Nnaalongo Kitone

Nnaalongo Kitone

Bino biddiridde olutalo wakati wa Full Figure ne Justine Nameere okusajjuka. Lwatandikira ku Full Figure okutegeeza poliisi nga Nameere ne banne abalala bwe baamukuba era ng’ayagala bakwatibwe era bavunanaanibwe.

 

Wabula Nameere eby’okukuba Full Figure yabyegaanyi era ku Lwokusatu yasiibye ku poliisi ya CPS mu Kampala nga bamukunya ku nsonga eno.

Full Figure Gwe Baatutte Ku Poliisi

Full Figure Gwe Baatutte Ku Poliisi

Wabula Nameere yabadde akyali ku poliisi ne zireeta Kusasira ne Kitone nga bagamba nti nga poliisi tennalowooza kukwata Nameere, Full Figure y’ateekeddwa okusooka okukwatibwa kubanga yagufuula mulimu okuvuma abantu n’okubavvoola.

 

Baagasseeko nti wadde abantu bangi abavumiddwa Full Figure era ne bamuloopa ku poliisi, tewali kye bamukolako.