Abawagizi b'omu ku beesimbyewo e Namataba bafiiridde mu kabenje!

Abantu babiri abagambibwa okuba abawagizi b'omu ku beesimbyewo, bafiiridde mu kabenje e Mayangayanga.  

Abawagizi b'omu ku beesimbyewo e Namataba bafiiridde mu kabenje!
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kwesimbawo #Bawagizi #Buwagizi #Mukono

Abantu babiri abagambibwa okuba abawagizi b'omu ku beesimbyewo, bafiiridde mu kabenje e Mayangayanga. 

 

Abalala basatu nabo batwaliddwa mu ddwaaliro ng'embeera mbi, ppiki kwe babadde batambulira, bw'etomereganye ne ttukuttuku omubadde abasaabaze bataano. 

 

Akabenje kano kaabadde Ndwaddemutwe ku luguudo olugenda e Mayangayanga, ttukuttuku nnamba UMA 053AP ng'evugibwa James Nsubuga bw'etomereganye ne pikipiki ebadde evugibwa Ramanzaani Kiwanuka. 

 

Ramanzaani Kiwanuka 19, omutuuze w'e Kanyogoga e Namataba afiiriddewo n'omusaabaze gw'abadde aweese ku pikipiki Rogers Sempeebwa 27.

 

Abalumiziddwa kuliko James Nsubuga omugoba wa ttukuttuku, ng'abeera Ntawo Mukono, Jovan Luzinda n'omulala ategeerekeseeko era Simon era nga bali Naggalama. 

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti abafudde , babadde bawagizi ba Douglas Namujaala omu ku beesimbyewo e Namataba.