ABANTU abawera nga 100, be bayoleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa mu Kampala, Wakiso ne Mukono.
Mu bikwekweto bino, bakwatiddemu emmundu enjingirire, enjaga eyobukoola, ensigo n'enzinge mu misokoto wamu n'ebintu ebigambibwa okuba ebibbe n'ebyuma by'emmotoka.

Egimu ku misokoto gy'ejaga egikwatiddwa n'abavubuka
Mu Kampala wakati 40, bayoleddwa okuva mu bifo ebyobulabe so ng'e Kira okuli Kitukutwe, Kiwologoma, Kkungu, Najjeera ne Buwaate, bakutteyo 7 n'ekibundu ekijingirire.
E Kajjansi, Ngobe, Sseguku, bayodde 45 so nga yo e Mukono Kyugu ne Kisenyi - Ddegeya, waliwo 9 abakwatiddwa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti ebikwekweto bigenda mu maaso.