Bino byanjuddwa mu lukiiko lw’abakulembeze olutuuziddwa ku kitebe kya disitulikiti olwetabiddwamu aba National Enterprise Cooperation abagenda okuddaabiriza oluguudo lwa mwasanjala oluva e Bugoma okudda e Kalangala.
Ku sente zino obuwumbi 6.8 zaakukola ku nguudo za Kalangala Town Council okuziyiwa kkolaasi asookerwako era kkiromita 5 ze zigenda okukolebwa wansi wa Ruwangayanya Engineering Services Limited.

Yinginiya Tugume okuva mu NEC ng’annyonnyola engeri oluguudo gye lugenda okukolebwamu
Obukadde 997 bugenda kuddaabiriza oluguudo oluva e Bugoma okutuuka e Kalangala oluwezaako obuwanvu bwa kkiromita 34 olwo lugattibweko endala 16 ku luguudo oluva e Kalangala okudda e Mulabana okutuuka ku mutendera gwa first class murrum wansi wa National Enterprise Cooperation (NEC).
Yinginiya Moses Tugume okuva mu NEC agamba nti omulimu guno ogw’okuddaabiriza oluguudo gwakutwala emyezi mukaaga gyokka era asuubizza nti baakukola omulimu omulungi.

Juliet Najjuma ng’ayogerera mu lukiiko.
“Twagala abaana b’e Kalangala tubawe emirimu naddala ku luguudo luno era tusaba beewandiise kubanga tugenda kutandika bunnambiro,” Tugume bwe yategeezezza.
Stephen Kizza mmeeya wa Kalangala Town Council asabye aba NEC okukolagana obulungi n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo kubanga banji babeesamba olwo ne bakola emirimu mu ngeri ya gadibe ngalye.
Juliet Najuma Ssenkoole, omubaka wa Pulezidenti e Kalangala asabye abantu okukolagana obulunji n’abagenda okukola enguudo zino naddala mu bibanja omugenda okuteekebwa emikutu gy’amazzi.
“Mulondoole ate mutubuulire we mulaba nga ebintu tebitambudde bulungi kubanga okulondoola enteekateeka za Gavumenti si kwabakulembeze bokka,” Najjuma bwe yategeezezza.