Amawulire

Kabaka Mutebi yeebazizza aba Makerere University: 'Mwebale okufuula enju ya Ssekabaka Mutesa II ekkaddiyizo ly’ebyafaayo'

KABAKA Muwenda Mutebi II yeebazizza yunivasite y’e Makerere olw’okufuula enju kitaawe Ssekabaka Muteesa II gye yasulangamu ng’asoma, ekkaddiyizo ly’ebyafaayo.

Kabaka Mutebi yeebazizza aba Makerere University: 'Mwebale okufuula enju ya Ssekabaka Mutesa II ekkaddiyizo ly’ebyafaayo'
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KABAKA Muwenda Mutebi II yeebazizza yunivasite y’e Makerere olw’okufuula enju kitaawe Ssekabaka Muteesa II gye yasulangamu ng’asoma, ekkaddiyizo ly’ebyafaayo.

Obubaka buno yabutisse Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga ku mukolo guno ekkaddiyizo lino kwe ligguliddwawo nga gubadde ku yunivasite e Makerere olunaku lwa leero.

“Nneebaza yunivasite y’e Makerere olw’okuteekawo myuziyaamu mu kujjukira emirimu egy’ettendo egyakolebwa Ssekabaka Muteesa II. Egenda kukola kyamuwendo okukuuma ebyo bye yakola ate n’okutumbula obulambuzi,” Nnalinya Nabaloga bw'asomye obubaka bwa Kabaka.

Omukolo guno gwakwataganye n’okukuza olunaku lw’ensi yonna olw’ennimi enzaaliranwa era Kabaka mu bubaka bwe, akubirizza abantu okufaayo bulijjo okukozesanga ennimi zaabwe enzaaliranwa era ne yeebaza ettendekero lino okuyingiza abavubuka mu nteekateeka z’olunaku luno n’agamba nti kyakuyamba okukuuma ennimi zino olubeerera.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yeebazizza yunivasite eno olw’okutumbula ennimi enzaliranwa nga bazisomesa abantu ekintu kyagambye nti kigenda kuyamba okuzikulakulanya.

Muteesa Kaddiyizo26

Muteesa Kaddiyizo26

Ku mukolo guno, kujaguziddwako emyaka 34 egy’ekibiina kya Nkobazambogo bukya kitandikibwa ku yunivasite e Makerere, Katikkiro Mayiga n’ategeeza nti kino kifuuse ennimiro Kabaka mw'aggya abakulembeze n’abaweereza ab’enjawulo abayambye okuzimba Buganda.

Amyuka Cansala wa yunivasite eno, Polof. Barnabas Nawangwe yeebazizza Kabaka olw’ekitiibwa kyabawadde n’abasindikira Nnaalinnya Lubuga okuggulawo myuziyaamu ebbuddwamu Ssekabaka Muteesa II ate n’okukuliramu emikolo gy’okukuza olunaku lw’ennimi ennansi mu nsi yonna.

 

Ebyafaayo ku nju ya Ssekabaka Muteesa II

  • Enju eno yazimbibwa mu 1944 nga yagikozesanga ng’asoma. Erimu ebisenge eby’enjawulo bye yakozesanga.
  • Mu myaka etaano egiyise yali mu mbeera mbi okutuusa Obwakabaka ne yunivasite e Makerere bwe baAkwatagana ne bagiddAabiriza okutuusa ku mulembe kw'eri kati.
  • Esangibwa ku Poloti 95 ku luguudo Quarry. Muteesa II yali Kabaka wa Buganda owa 35 era Pulezidenti wa Uganda eyasooka ng’era yakola kinene okulwanirira obwetwaze bwa Uganda.
Tags:
Makerere University
Kabaka Mutebi
Ssekabaka Muteesa 11
Nnaalinnya Lubuga Nabaloga
Polof Nawangwe