Bajeti ya Buganda esomwa leero

OMUWANIKA wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa ali mu kusoma embalirira y'ebyensimbi

Akulira eggwanika lya Buganda ow'ekitiibwa Waggwa Nsibirwa ng'agenda kutandika okusoma bajeti
By Dickson Kalumba
Journalists @New Vision

OMUWANIKA wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa ali mu kusoma embalirira y'ebyensimbi
Omukolo guno guli mu lutuula lwa Lukiiko lwa Buganda olukubirizibwa Patrick Mugumbule e  Bulange-Mmengo.
Lwetabiddwamu Ababaka ba Palamenti abakikkirira ebitundu bya Buganda nga bakulembeddwamu Omumyuka wa Ssentebe w'akabondo k'ababaka abava mu Buganda,Dr. Lulume Bayigga. 

Mu kiseera kino, Waggwa nga mu kiseera ky'ekimu ye Mumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda,akyaawa ensasanya n'ebyakolebwa mu mbalirira y'Omwaka oguwedde eyali ey'obuwumbi 257.

Katikkiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga yasoose okwogerako eri Abakiise n'abategeeza nti Kabaka Mutebi II gyeyagenda e Bulaaya okulaba abasawo be, bitambula bulungi.