Bya Dickson Kulumba
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okukuliramu emikolo gya Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, ng'Obwakabaka kwe bujjukirira nga bwe giweze emyaka 59 bukya bufuzi bw’amatwale bukomezebwa.
Emikolo giri mu Lubiri e Mmengo leero n’omulamwa “Okunyweza bulungibwansi kye kitiibwa ky’Obwaami”.
Wabaddewo n'emikolo egy’enjawulo egyakulembedde ebijaguzo ng'okugema abantu obulwadde bwa COVID-19 okusobola okubeera mu bulamu obulungi, ku Bulange-Mmengo.
Minisita wa Bulungibwansi mu Buganda, Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo era nga ye Ssentebe w’olukiiko olutegeka emikolo gya Bulungibwansi omwaka guno yategeezezza ng’abantu okubeera abalamu obulungi kye kimu ku bintu ebiri mu nteekateeka ya Bulungibwansi bw'atyo n’akubiriza abantu bonna abamaliriza okwegemesa okusikiriza bannaabwe bagemebwe.
Eggulo waategekeddwaayo n'omusomo ogukwata ku nfuga ya FEDERO ne Ssemasonga ettaano nga gwakulembeddwaamu Minisita w’Obwakabaka ow’ensonga ez’enkizo David Mpanga eyategeezezza ng’Obwakabaka bwe bubakanye ne kaweefube w’okuyigiriza abantu ebikwata ku nkola eno era batandike okugibanja Bannabyabufuzi abakola amateeka,eteekebwe mu nkola. .
Abasomesa abalala kwabaddeko; Isaac Mpanga ng’ono ye Ssentebe w’akakiiko k’amateeka mu lukiiko lwa Buganda, eyaliko Minisita e Peter Mulira era ng’omusomo gwetabiddwaamu n’omubaka wa Nakaseke Central, Allan Mayanja Ssebunya.
Nga October 8,1962 Gavumenti ya Bungereza yakomya obufuzi bwayo ku Buganda era nga October 9,1962 Buganda yeegatta ku Uganda eyawamu okukola eggwanga eryefuze.