Amawulire

Kabaka alagidde abantu okunywerera ku ndagaano ze bakola ne bannaabwe

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asabye abantu bulijjo okufuba okunywerera kwebyo bye bakkiririzaamu baleme kuwubisibwa n’okwegaana bannaabwe olw’ebyenfuna n’obugagga. Kabaka asabye abantu okussa ekitiibwa mu ndagaano ze bakola nga teziri mu buwandiike, n’ezo okubeera obujulizi era babeere nga beesigangana ng’abantu.

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asabye abantu bulijjo okufuba okunywerera kwebyo bye bakkiririzaamu baleme kuwubisibwa n’okwegaana bannaabwe olw’ebyenfuna n’obugagga. Kabaka asabye abantu okussa ekitiibwa mu ndagaano ze bakola nga teziri mu buwandiike, n’ezo okubeera obujulizi era babeere nga beesigangana ng’abantu.
“Ensonga eno nkulu nnyo eri abakulembeze baffe ne Bannabyabufuzi naddala nga tujjukira omukwano n’obwetowaze obweyolekera mu kubonaabona n’okuzuukira kwa Yesu Kristo,” Kabaka bw’akuutidde Bannayuganda. Ebyo Kabaka yagambye nti biva mu ssomo erisinga okujjukizibwa ennyo abakkiriza mu kiseera kino nga lye lya Petero okwegaana Yesu ate ne Yuda okulya olukwe mu Yesu bwatyo n’asaba obutatwalirizibwa nnyo mwoyo gw’okwekomya ebyobugagga.  Yakunze abantu be
okwongera amaanyi mu lutalo lw’okukendeeza okusaasaana kwa Siriimu. “Waliwo okugenda mu maaso mu lutalo lw’okulwanyisa mukenenya era ebibalo biraga nti disitulikiti ezaali 10 eza Buganda nga ze zaali zisinga okubeeramu abalina mukenenya,
kakati zaafuuka 3. Kino kiragira ddala okugenda mu maaso mu ggwanga mu lutalo lw’okulwanyisa okusaasaana kwa siriimu.”
Bino biri mu bubaka bwe obwagaliza abantu Amazuukira g’omwaka guno ag’essanyu nga bwafulumiziddwa ku Lwokutaano. Omutanda yakunze abantu be okujjumbira okugula emijoozi basobole okwetaba mu bungi mu misinde gy’amazaalibwa ge eginaabeerawo nga April 7, 2024 mu Lubiri e Mmengo.
Yasabye Amazuukira gatujjukize obwetoowaze, okukolera emirembe n’okuyamba abali mu bwetaavu.

Tags: