Amawulire

Harmonize ow'e Tanzania aguze ennyumba eriko ekisaawe ky'ennyonyi!

Ekigenda mu maaso ennaku zino mu nsiike y’okuyimba, kuvuganya omuyimbi ki asinga ennyumba.

Harmonize ow'e Tanzania aguze ennyumba eriko ekisaawe ky'ennyonyi!
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Omuyimbi Harmonize aguze ennyumba ya bukadde

 

Ekigenda mu maaso ennaku zino mu nsiike y’okuyimba, kuvuganya omuyimbi ki asinga ennyumba.

 

Rajabu Abdulkahali Ibrahim amanyiddwa nga Harmonize okuva e Tanzania naye alaze ky’alinawo.

 

Ono aguze ennyumba egambibwa okuba nga kati y’esinga mu bayimbi ba East Africa era etandise okwogeza abantu obwama.

 

Enyumba eno kigambibwa etudde ku yiika z’ettaka eziwera era eriko ekidiba ekizungu ekiwugirwamu, we bazannyira ensero, ekifo awagwa ennyonyi ekika kya ‘Helicopter’ kw’ossa ne ggiimu mw’anaakoleranga omubiri.

 

Bino byona okubaawo, wayise mbale nga omuyimbi Moses Ssali amanyiddwa nga Bebe Cool yaakayanjula ennyumba egambibwa okuba ey’obuwumbi gyeyaguze e Bwebajja mu ba loodi.

 

Harmonize anaatera okufulumya olutambi lwe olupya lwe yatuumye ‘31’ era nga eky’okulaga ennyumba kigambibwa agezaako kupika lutambi luno kw’ossa n’oluyimba ‘Beautiful’

 

Yaliko mu kibiina ky’eyali muko waffe, Diamond Platinumz ekya Wasafi Records wabula ne baawukana bubi nnyo.

 

Ayimbyeko n’abayimbi bawano okuli King Saha, Eddy Kenzo, Sheebah n’abalala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Tanzania
Bayimbi
Harmonize
Kisaawe
Nnyonyi
Kugula