Amawulire

Munnayuganda abadde anoonyezebwa gavumenti ya Amerika ku by’enjaga akwatiddwa

Munnansi wa Uganda Micheal Katungi Mpeirwe aludde ng’anoonyezebwa gavumenti ya America akwatiddwa abeebyokwerinda bwatyo n’atwalibwa ku limanda e Luzira nga alindiridde okuddizibwayo okuwozesebwa mu Amerika.

Munnayuganda abadde anoonyezebwa gavumenti ya Amerika ku by’enjaga akwatiddwa
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

Munnansi wa Uganda Micheal Katungi Mpeirwe aludde ng’anoonyezebwa gavumenti ya America akwatiddwa abeebyokwerinda bwatyo n’atwalibwa ku limanda e Luzira nga alindiridde okuddizibwayo okuwozesebwa mu Amerika.

 

Ono abadde anonyezebwa ku bigambibwa nti yeekobaana ne munnansi wa Russia, Peter Dimintroy Mirchev, omunnakenya Elisha Odhiambo Asumo ne Subiro Osmund Mwapinga nga munnansi wa Tanzania okugezaako okukusa kkiro 5 ez'enjaga mu America.

 

Omusango omulala gwakwekoobana okubeera n'ebyokulwanyisa omuli emmundu wamu n'okugezaako okuvujjirira ebibiina by’obutujju mu America.

 

Okusinziira ku ludda oluwaabi olukulembeddwamu Joan Keko ne Asingwire Adrine Katingi ne banne. emisango baagiddiza bweru era gavumenti ya America erudde ng’ebanoonya nga eyagala baddizibwe bawozesebwe.

 

Katungi ng’ono yaliko omukungu mu kisinde kya PLU yakwatibwa ku lunaku Lwomukaaga abeebyokwerinda oluvannyuma lw’omulamuzi ku kkooti ya Buganda Road, Ritah Neumbe Kidasa okuyisa ekibaluwa ki bakuntumye nga ayagala aletebwe basobole okutandika okukola ku mitendera gy’okulaba ng’addizibwayo atandike okuwerennemba n’emisango egimuvunaanibwa.

 

Emitendera egyo gibeera gya nnaku 15. Omulamuzi alagidde oludda oluwaabi obutasussa July,10, 2026 wabula Katungi ng’ayita mu bannamateeka be okuli Samuel Kakande ne Musa Nsamba bawakanyizza ekya Katungi okuddizibwayo mu America okuwerennemba n’emisango.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Gavumenti
Amerika
Kunoonya
Njaga
Kukwatibwa