Ghetto kids beesunga kuwangula mpaka za Britain's Got talent ; Bagenze ku fayinolo

OBUBADI, obumodi n’ebirungo ebirala bamusaayi muto aba Triplets Ghetto Kids bye baatadde mu mazina gaabwe byalese abazungu nga banaamiridde

Ghetto kids beesunga kuwangula mpaka za Britain's Got talent ; Bagenze ku fayinolo
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Fayinolo

OBUBADI, obumodi n’ebirungo ebirala bamusaayi muto aba Triplets Ghetto Kids bye baatadde mu mazina gaabwe byalese abazungu nga banaamiridde okukkakkana nga balondeddwa okugenda ku za kamalirizo.

Ghetto Kids nga bali ku siteegi bwe baabadde bazina amazina ku siteegi.

Ghetto Kids nga bali ku siteegi bwe baabadde bazina amazina ku siteegi.

Ku Lwokussatu ekiro bano battunse n’abazungu mu mpaka za Britain’s Got Talent ezaabadde mu Fountain Studios mu kibuga London ekya Bungereza nga zaakutumbula bitone era baabadde ku mutendera oguddirira ogw’akamalirizo.

Wadde nga waliwo abalowooza nti ku mutendera ogwa “Quarter final” baabakwatibwa kisa okubeera nga bayitawo, ku “Semi-Final” bakakasizza ensi nti si ba muzannyo olw’omutindo ogwa waggulu gwe bayolesezza okwongera okukikkaatirizza nti ddala ebitone babirina tebali mu kubaatisa.

Ba Ghetto Kids lwe baali ku siteegi omulunndi ogwasooka.

Ba Ghetto Kids lwe baali ku siteegi omulunndi ogwasooka.

Battunse n’abalala babiri okwabadde Travis Gorge ne Harry Churchill nga babadde beetagako babiri bokka okugenda ku mutendera ogw’akamalirizo era nga aba Ghetto Kids be baasoose okusoma nti bayiseemu olwo enduulu mu kizimbe n’ekubwa nga mpitirivu ng’eyinza n’okukwabya amatu ng’eno bbo bajjula kufa ssanyu.

Oluvannyuma lw’okuyitawo awo baakwetaba mu zaakamalirizo eziriyo ku Ssande eno nga June 4 era ng’omuwanguzi waazo agenda kufuna emitwalo gya Pound ya Bungereza 250,000 nga muza wano zisoba mu kawumbi.

Dauda Kavuma maneja wa baana bano eyasoose okwebaza abantu abaabawagidde n’okubasabira okulaba nga bayita ku mitendera egy’enjawulo yategeezezza nti n’ez’akamalirizo bazeetegekedde bulungi era nti beesuunga kudda nga bawangudde ssente ezo.

Maneja Dauda Kavuma n'abaana b'alabirira

Maneja Dauda Kavuma n'abaana b'alabirira

 

Login to begin your journey to our premium content