Bya Ssennabulya Baagalayina
OMUBAKA wa Kalungu East mu Paalamenti Francis Katongole Katabaazi awabudde Gavumenti okwesonyiwa ettaka lya mayiro nti lijja kugireetera obuzibu kuba abantu ssi basanyufu olw'abagezaako okulitaganjula.
Mu ngeri y'emu awabudde pulezidenti ne baminisita be nti basookenga okwebuuza ku babaka ba Palamenti oba abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo olwo balyoke basalewo ku biruma abantu.
Yagambye nti ssente zaabakosebwa omuggalo emitwalo 10 baakola nsobi okuziyisa ku ssimu kyokka ng'abawejjere abatuufu bangi tebalina ssimu n'ekyaddiridde be bamu ku baziweereddwa okuzifuna emirundi ebiri.
Bino Katabaazi yabyogedde akwasa ttaani z'obuwunga ttaano, masiki, ssabbuuni n'obudomola eri ab'akakiiko akalwanyisa COVID 19 mu kalulu akakulirwa RDC Pastor Caleb Tukaikiriza.
Ebintu Katabaazi abibakwasirizza ku offiisi ze e Lukaya n'atuma RDC Tukaikiriza amutuusize okuwabulwa kwe eri Pulezidenti Museveni nti bbo ng'abooludda oluwabuzi baagala nnyo okumuyambako mu by'entambuza y'emirimu gy'eggwanga nga tebasika muguwa noolwekyo abeebuuzeengako nga tannasalawo kyankomeredde.
Katabaazi yagambye nti oluusi abali ku lusegere lwa Pulezidenti be bamutomeza mu bintu ebimu n'ajjuliza eky'okubawa ssente obukadde 200 nti bazigulemu mmotoka kyokka ng'eggwanga litubidde mu kattu k'ekirwadde kya COVID 19 nga waakiri Gavumenti yandisoose okugula eddagala erikigema covid 19 n'omukka gwa Oxygen n'egujjuza mu malwaliro.
Yawadde gavumenti amagezi erongoose omutindo gw'amalwaliro gaayo ng'egassaamu buli ekyetaagisa n’okulongoosa embeera abasawo mwe bakolera.
Katabaazi yeetondedde abalonzi nti talina ssente zimusobozesa kuwa bonna buwunga kuba ne Gavumenti ennamba kyagirememye okubagabira bonna ssente za Ssaabaminisita Robinah Nabbanja.
Ssentebe wa LCV, Ahmed Nyombi Mukiibi n'omumyuka we Gerald Kiggundu ne Meeya wa Lukaya Charles Tamale bennyamidde olw'obubuga bwabwe nga Lukaya okusosolwamu mu ssente za Nabbanja so ng'abantu baabwe bangi abaggalwa nga tebakyakola.
RDC Pastor Tukaikiriza naye alung'amizza abatuuze ku kirwadde kya COVID 19 ekisse abantu bangi nti kikyaliwo nnyo n'abakubiriza okugondera amateeka g'ebyobulamu.
Akubiriza abakulembeze bonna okutya Katonda balemenga okwekkusanga bokka nga tebalumirirwa bantu be bakulembera n'asiima Katabaazi na bonna abawaddeyo olw'okudduukirira abakoseddwa.