GAVUMENTI yeesammudde ensala y’Omulamuzi Julia Ssebutinde ku by’olutalo lwa Yisirayiri e Gaza.
Omubaka wa Uganda mu kibiina ky’amawanga amagatte, Adonia Ayebare, ye yasoose okuvaayo n’agamba nti ebya Ssebutinde bye yasaze bibye ng’omuntu so si y’endowooza ya Uganda, era Uganda eyimiridde wamu ne Palestine mu lutalo luno.
Kino kiddiridde Omulamuzi Ssebutinde nga ye mulamuzi Munnayuganda atuula ku kkooti y’ensi yonna, obutakkaanya ne balamuzi banne ku lutalo lw’e Gaza.
South Africa yatwala omusango mu kkooti y’ensi yonna, ng’evunaana Yisirayiri okwenyigira mu kittabantu e Gaza, nga yeerimbise mu kutta ab’akabinja ka Hamas, abaakola obulumbaganyi ku Yisirayiri nga October 7, 2023.
Mu mpaaba ya South Africa, yasaba abalamuzi okulagira Yisirayiri okukomya okwonoona ebizimbe by’Abapalestina omuli n’amasomero n’amalwaliro, okukomya okusengula abantu, okukkiriza emmotoka z’obuyambi okuyingira e Gaza, okulekerawo okutta abantu ba bulijjo, okuyimiriza okulwana, n’ebirala.
Ku Lwokurtaano kkooti yawadde ensala yaayo, n’eragira Yisirayiri okukomya ebikolwa ebiyinza okuvaako ekitta bantu n’okubasengula.
Kkooti era yalagidde Yisirayiri okukkiriza ebimotoka by’obuyambi okuyingira e Gaza.
Wabula Ssebutinde yawakanyizza byonna balamuzi banne bye baasaze, n’agamba nti South Africa yalemeddwa okuleeta obukakafu obulaga nti Yisirayiri by’ekola e Gaza ebikola egenderedde okutta abantu.
Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’ensonga z’ebweru Vincent Bagiire Waiswa yafulumizza ekiwandiiko n’alaga nga Uganda bw’eyimiridde ne Palestine mu lutalo luno.
Mu lukungaana lwa NAM olwabadde e Munyonyo, Bagiire agamba nti Uganda ng’eri wamu n’amawanga agali mu mukago guno, baasalawo nti Yisirayiri eve mangu e Gaza, Abapalasitiina basobole okufuna obuyambi bwe beetaaga.
Wabula omwogezi wa Palamenti Chris Obore ku mukutu gwe ogwa X yagambye nti Ssebutinde alina eddembe lye okusalawo nga bw’aba alabye.