zaabweOluvannyuma lw’emyaka egiwerako egijjudde okweraalikirira, okumenyeka emitima wamu n’okunoonya obutakoowa, abaana abalenzi ababiri abaali baakukusibwa nga bato ddala, bamaze nebazuulibwa era nebaddizibwa bazadde baabwe. Obuwanguzi buno bubaddewo lwa bumalirivu, obutaggwaamu maanyi wamu n’okuba n’essuubi.
mwasiriziNg’ekibiina ekisinga okukola omulimu gw’okulabirira abaana abataliiko mwasirizi mu Uganda, aba Love Without Boundaries (LWB), kibadde kikolagana n’ebitongole ebikwatibwako omuli Gavumenti wamu n’abobuyinza abalala mu bitundu eby’enjawulo mu buwereza bwabwe obutakoma ku kulabirira baana bano kwokka, wabula n’okunoonya famire zaabwe ate n’okuwagira enkola zonna ez’okubayunga. Mu mwaka gwa 2026 gwokka, Abazadde b’abaana 25 baazuulibwa era nebaddizibwa abaana baabwe.

Abazadde n'abaana
Abaana okuli Cam ne Henrik baamala ebbanga lyabwe ery’obuto erisinga n’ekitongole kya Love Without Boundaries (LWB) oluvannyuma lw’okununulibwa ku muntu eyali yabawamba.
Okumala emyaka mingi, abantu baalowozaanga nti abaana bano ba Luganda oluvannyuma lw’okuba ngabaasangibwa mu mbeera yeemu. Kyokka bwebaakeberwa ndagabutonde, kyazuulibwa nti abaana bano tebeerinaako kakwate era omulimu gw’okunoonya famire zaabwe negugenda mu maaso.Omulimu gw’okuzuula famire zaabwe gubadde munene ddala era nga gwakulemberwamu aba Love Without Boundaries( LWB) nga bayambibwaako abalwanirizi b’eddembe ly’abaana mu bitundu ebgy’enjawulo, abakulembeze b’ebitundu, abalwanirira eddembe ly’abaana n’amaka mu poliisi wamu n’emikutu gy’amawulire.
Okunonyereza kwakolebwa mu disitulikiti nnyingi, okubuuza ebibuuzo eby’enjawulo eri ab’oluganda lw’eyakwatibwa nga akukusa abaana bano, okwetegereza ebiwandiiko bya poliisi, okwetegereza ebiwandiiko by’obuzaale wamu n’okweyambisa embeera zonna ezaaliwo okulaba nga bazuula ensibuko y’abaana bano.

Omwana
Newankubadde eyakwatibwa nga akukusa abaana bano (yasibibwa era ali mu kkomera) yabuuzibwa ebibuuzo bingi, yabawanga okuddibwamu kwa bulimba ekintu ekyaakalubya okunonyereza kwabwe. Newankubadde embeera eno yali esomooza, LWB yasigala mmalirivu mu kunoonyereza n’okuzuula bazadde baabwe.Obuwanguzi bwatandika okulabika oluvannyuma lw’ekirango ekyayita ku leediyo y’omukitundu abaana bano gyebaawambibwa. Ekirango kino kyaatabula famire ezaalina abaana abaababulako okumala emyaka era nebavaayo okutandika okumunoonyereza n’okumanya ebisingawo.
Oluvannyuma lw’ensisinkano ez’enjawulo, abazadde b’abaana bano baatandika okufanaganya ebifananyi byabwe n’abenganda era n’okulabira ddala nga waliwo akakwate ne baganda baabwe. Bano baakeberebwa endagabutonde era ebyavaamu nga biweera ddala essanyu.Ku Cam, ebyava mu kukebera endaga butonde, ebitundu 99.9 ku buli 100 byali bikwatagana ne famire eyabulwako omwana wabwe ow’omwezi ogumu ku katale mu mwaka gwa 2018. Kyazuulibwa nti okumala emyaka mingi, bazadde be baali mu maziga ag’okubulwaako omwana waabwe nga tebamanyi oba baliddamu okumulabako.

Omwana
Kyokka baasigala ne’ssuubi.Bwebazzeemu okusisinkana omwana waabwe, ekyaalo kyonna kyaakungaanye okujjaguza okudda kw’omwana wabwe, amaziga ag’essanyu gaayise mu b’enganda nga bazzeemu okulaba omwana gwebamaze ebbanga eddene nga banoonya. Maama we yagambye nti okubula kw’omwana kwali kwamumalamu omutima, ate Kitaawe n’agamba nti buli lw’ajjukira ebbanga ly’amaze ng’anoonya omwana okuva lweyababulako mu katale, amaziga gajula okumuyitamu.
Eri Ab’enganda, okuzuulibwa kw’omwana ono kwabazizzaamu essuubi n’okubavumula ebiwundu ebibabadde ku mitima okumala emyaka emingiOluvannyuma lw’okuwambibwa nga wa myeezi esatu gyokka mu 2020, Henrik yamala emyaka (4) ena egy’obuto mu kitongole kya Love Without Boundaries (LWB). Ng’ayambibwako ekitongole kino, yakula n’avaamu omulenzi eyeyagaza era ow’amaanyi.Oluvannyuma lw’okuwulira ekirango ky’omwana ono ku leediyo, omusajja eyali tavanga ku mulimu gwa kunoonya mutabani we yeesowolayo.
Okukebera endagabutonde kwakakasiza ddala nti Henrik ye mwana eyali yababulako. Amawulire gano gaaleeta essanyu mu kitundu kyonna ng’abantu basanyukira okudda kw’omwana eyali abuze. Baliranwa, ab’enganda wamu n’abakulembeze b’ekitundu baakungaanira mu maka ga bazadde be okumwaniriza, era nga bakakasa nti ddala okuzuulibwa kwe kya magero kyenyini.
Enteekateeka z’okukola omukolo ogumwaniriza zaakolebwa era n’ebirabo by’okumuwa nebitegekebwa. Omukolo gwali gwa ssanyu okukamala.Leero, abalenzi bombi bali mu famire zaabwe era obulamu butambula bulungi era bali mu kuzimba oluganda olw’ekimemette wakati

Abaana
Emboozi ya Henrik eraga amaanyi agali mu butaggwaamu ssuubi.
wa baganda baabwe wamu n’abenganda. Olugero lw’abaana bano lutulaga nti ne mu biseera ebisinga okuba eby’akazigizigi, essuubi lisobola okufunika. Mu kulemerako, okukolagana n’abakwatibwaako wamu n’okutuukiriza obweyamo, abaana babiri abaali balowozebwa nti baazaawa, basobodde okudda eka. Obuwanguzi buno tubutunuulira nga mukisa, wabula bwefumintirizeeko nnyo olw’obulumi abakukusa abaana bwebaleeta eri bo ng’abaana ate ne famire gyebaba babaawuddeko.
Newankubadde Cam ne Henrik baafunye omukisa nebazuula bazadde babwe, naye waliwo abaana abalala bangi abakukusibwa nebatafunika. Buli lwewabaawo omwana azuulibwa era n’adda ewabwe, wabeelawo amaka amalala agakyalinda omwana waabwe okudda eka.Abaana bano okuddamu okukwatagana ne famire zaabwe, bujulizi bwa nkukunala obulaga nti okulemerako kwa famile nga zinoonya abaana baabwe, obuyambi okuva mu kitongole ekyaalabirira abaana bano wamu n’obuwagizi bw’abantu b’ekitundu kwavaamu ebibala.
Ekisinga mu byonna kwekusigala n’essuubi, buli mwana asaana okubeera gy’azaalwa. Olugero lwabwe lutulaga nti awaka wasukka okuba ekifo obufo, naye galaga ensibuko y’omuntu wamu n’okulaga awatuufu w’ava