Amawulire

Agambibwa okutemaatema ente ya mutuuze munne ng'agiranga kulya birime akwatiddwa poliisi

Bibadde mu zzooni ya Lukaya LC 1 mu muluka gw'e Bugonzi mu ggombolola y'e Kitega e Mubende, abantu ab’emitima emibi, bwe batemye sseddume w'ente y'omujaasi Brig Joshua Ainebyona.

Agambibwa okutemaatema ente ya mutuuze munne ng'agiranga kulya birime akwatiddwa poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUSAJJA agambibwa okutema ente ya mutuuze munne olw'okwonoona ebirime, embwa ya poliisi emukutte.

Bibadde mu zzooni ya Lukaya LC 1 mu muluka gw'e Bugonzi mu ggombolola y'e Kitega e Mubende, abantu ab’emitima emibi, bwe batemye sseddume w'ente y'omujaasi Brig Joshua Ainebyona.

Ejjambiya egambibwa okukozesebwa mu kutemaatema

Ejjambiya egambibwa okukozesebwa mu kutemaatema

Omukozi ku ffaamu y'akedde okugiraba era n'atemya ku mukama awe poliisi n'etwala embwa { Gaza} era ng'esoose kuzuula jjambiya eyakozeseddwa mmita nga 100 mu nnimiro ya kasooli.

Ate era n'eddamu n'ewunyiriza okutuuka mu mmita nga 600 n'esibira mu maka ga Steven Tumusiime era nga waliwo n'amatondo g'omusaayi.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lameck Kigozi agambye nti bakutte abantu basatu okuli Amos Tumwine , Caleb Aijuka ne  Joshua Abaho era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Mutuuze
Poliisi
Nte
Kulya
Birime
Kulanga
Kukwatibwa