OKUZIMBA ebibiina ku masomero 3 agali mu mbeera embi e Mukono kutandise nga Gavumenti enteekateeka eno egitaddemu obukadde 400.
Amasomero agaganyuddwa mu nteekateeka eno kuliko aga pulayimale 2 okuli; erya Lweza ne Ssekiboobo P/S nga kw’otadde ekizimbe ekya Science Laboratory ku St. Charles Lwanga SS Bukerere.
Nassolo yalaze obwetaavu bwe balina naddala ku bbula ly’abasomesa mu masomero ga Gavumenti okwetooloola disitulikiti ekireeseewo omuziziko mu nkola y’abayizi mu masomero gano n’akubira minisitule y’ebyenjgiriza omulanga okubayambako.
Amyuka meeya wa munisipaali eno, Phoebe Faith Babirye eky’ebbula ly’abasomesa mu masomero ga Gavumenti yakitadde ku kakiiko ka disitulikiti akagaba emirimu akataliiwo n’ategeeza nga munisipaali bw’eri mu nteekateeka ey’okufuna akakiiko kaayo akagaba emirimu okwekutula ku ka disitulikiti ke baalemwa okussaawo olw’emivuyo.
James Mutyabule, omuyambi wa RDC ow’ekibuga kino, yasiimye Gavumneti olw’enteekateeka eno n’asaba abaweereddwa ogw’okuzimba ebizimbe bino okwewala okukola gadibe ngalye.