Amawulire

Gavt. esumuludde ssente n’egumya Bannayuganda

MINISTULE y'ebyensimbi esumuludde ssente ezigenda okutambuza eggwanga wakati wa January ne March omwaka guno n'egumya Bannayuganda nti ebyenfuna bigenda byakwongera okutereera kuba ssente ezikung’aanyizibwa mu misolo zeeyongedde.

Ramathan Goobi ng'annyonnyola
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISTULE y'ebyensimbi esumuludde ssente ezigenda okutambuza eggwanga wakati wa January ne March omwaka guno n'egumya Bannayuganda nti ebyenfuna bigenda byakwongera okutereera kuba ssente ezikung’aanyizibwa mu misolo zeeyongedde.
Ministule eno era yaakakasizza nti akakiiko k'ebyokulonda ne ministule ezivunaanizibwa ku byokwerinda nabyo byaweereddwa ssente okuyambako mu kutegeka akalulu ka 2026 n'okwongera okunyweza eby'obutebenkevu by'eggwanga.
Bino byayogeddwa omuwandiisi ow'enkalakkalira mu ministule y'ebyensimbi, Ramathan Ggoobi bwe yabadde afulumya ssente ez’embalirira esembayo mu mwaka gw'ebyensimbi 2024/ 2025 mu lukung’aana lw'abamawulire.
Ggoobi yategeezezza nti ebyenfuna by'eggwanga bikuze okutukira ddala ku bitundu 6.7 ku 100 bw’ogeraageranya n’ebitundu 5.6% mu mwaka gw'ebyensimbi 2023/2024. Obuwanguzi buno buvude ku Bannayuganda okunyiikira okulima, amakolero okutinta, ebyobusuubuzi ebyettaniddwa n’ebirala.

Yannyonnyode nti omwaka we gwatukira mu December 2024, Gavumenti yali ekung’aanya ssente okuva mu misolo tuliriyoni 15.33 nga zaasukka bbiriyoni Gavt. ereeta densite ezitaggwaako
326.83 kw’ezo ze baali basubira.
Ssente tuliriyoni 15.64, Gavumenti z’efulumizza mu mbalirira y'ebyensimbi esembayo mu mwaka nga ku zino tuliriyoni 2.044 zaakusasula misaala gy'abakozi, bbiriyoni ssente 348.3 za minisitule y'ebyokwerinda, bbiriyoni 83.38 za poliisi, amakomera gaweereddwa bbiriyoni 40.11, ekitongole ekikessi munda mu ggwanga (ISO) kiweereddwa bbiriyoni 28.08 ate ekikettera wabweru w'eggwanga ne kiweebwa bbiriyoni 18.71 .
Gavumenti ez'ebitundu ziweeredwa bbiriyoni 308.75 nga ku zino 112.28, za masomero ga bonna basome ate bbiriyoni 36.6 ziyambeko mu malwaliro g'ebitundu.
Enkola ya Gavumenti eya PDM yaweereddwa bbiriyoni 529 sso nga ate ssente bbiriyoni 45.77 zaaweereddwa ministule y'ekikula ky'abantu omuli n’abakadde.
Eddwaliro ly’e Mulago ne Butabika gaaweereddwa bbiriyoni 35.9, eddwaaliro erijjanjaba kookolo (Uganda Cancer Institute) ne liweebwa bbiriyoni 6.84, erijjanjaba abalwadde b'emitima (Uganda Heart Institute) ne liweebwa bbiriyoni 7.52, Uganda Blood Transfusion Services yaweereddwa bbiriyoni 5.78 ate ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutereka eddagala ne kiweebwa bbiriyoni 110.65.
Amakolero g’ebyobulimi gaaweereddwa bbiriyoni 15.73, ssaayansi ne tekinologiya n’afuna 85. Palamenti yafunye 166.83, ministule y'Ebyamateeka n’eweebwa 58.23. Ofiisi ya ssaababalirizi w'eggwanga yaweeredwa bbiriyoni 16, amaka g'Obwa pulezidenti ne gaweebwa bbiriyoni 5.43, ministule y'ebyentambula yaweereddwa 396.55 okuteekesa mu nkola oluguudo lw'eggaali y'omukka nebirala.
Ministule y'Ebyenjigiriza yaweereddwa bbiriyoni 124.45 okuyambako mu kugaziya amasomero ga siniya n'okubangula ababundabunda mu byemikono ate KCCA n’eweebwa bbiriyoni 111.58 okukola ku Greater Kampala Urban Development project.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: