Bya Joseph Innocent Ssenfuma
OMUVUBUKA kafulu mu kujingirira omukono gwa president Museveni n'agabira abantu emirimu n'okubaferako ensimbi emisango omunaana egibadde gimuvunanibwa agikirizza era omulamuzi wa kkooti ya Buganda rd Winne Nankya Jatiko amukalizze mu kabulamuliiro ebbanga lya mwaka gumu n'emyezi mukaaga..
Male Nicholas atemera mu gy'obukulu 27 omutuuze w'e Lubowa Nazziwa zooni Makindye Ssaabagabo yakirizza emisango munaana egyokwefuula kyatali, okufeera abantu n'okufuna ensimbi mu lukujukuuju nga kwogase okujjingirira omukono gwa president Museveni n'ogwa Ssabaminisiit nagaba emirimu eri abantu abenjawulo.