OMUBAKA omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima, asabye Gavumenti edduukirire amaka agaafiiriddwako abantu 4 oluvannyuma lw'ekikomera okugwira amayumba mu zzooni y’e Bweyogerere mu munisipaali y’e Kira, mu nkuba ey’amaanyi eyafudembye.
Naluyima era yasabye n’okukebera ebizimbe ebirabika okuba eby’obulabe, n'okuwa ekitongole kya KCCA mu bitundu ebirala obuyinza obw’okukebera ebizimbe eby’enjawulo okwekenneenya obulabe, n’okuwa abatuuze amagezi n’okubasaba okuvaawo mu bifo ebirabika nga eby’obulabe.
Mu kwanukula ku nsonga eno, minisita omubeezi ow’ebigwabitalaze Lillian Aber, (mukazi, Kitgum), yasabye Naluyima okuwaayo amannya g’abo abaafudde ne lipooti ewandiikiddwa, asobole okutegezaako abakozi b’ekitongole ku nsonga z’obuyambi obuyinza okuweebwa abaasimattuse ne ffamire zaabwe.