Abantu babiri okuli omuvuzi wa pikipiki ne ddereeva wa loole, bafiiriddewo mu kabenje akagudde ku Kiwempe Rd ng'ova e Ggaba mu kitundu ky'e Kabalagala.

Mmotoka ekika kya Volvo eyayonooneddwa mu kabenje kano.
Abantu abalala abasatu batwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago ng'embeera mbi, mu kabenje kano omubadde emmotoka 4
Kabaddemu emmotoka UAW 675F Isuzu, UA 547BK Fuso Fighter, UBM 973Y volvo, UBB 711Z Super Custom ne pikipiki nnamba UFT 619Z Boxer.

Bbooda eyayonooneddwa era nnyini waayo eyabaddeko yafiiriddewo
Kigambibwa Isuzu eremeddwa okusiba n'etomera pikipiki okubadde omusaabaze n'egoya emmotoka endala, n'esibira ku FUSO n'eyonoona n'ekizimbe.

Super Custom nayo yayonooneddwa.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti abadde avuga pikipiki afiiriddewo ne ddereeva wa Isuzu era emirambo gitwaliddwa mu ggwanika e Mulago ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.