Kkampuni ya Zion Estates etunda n'okugula ettaka, ekuleetedde poloti mu Estate yaayo ey’e Matugga Mbuggu, kilomitta 30 zokka okuva mu kibuga Kampala.
Poloti eziri mu Estate eno ogenda kuzifunira ku bukadde 15 bwokka, weyagalire mu kitundu ekikulaakulanye, kubanga abaasooka okugulamu poloti baazimbamu dda ekitundu ne kikulaakulana.
Ne bwoba tolina ssente za kagwirawo, osobola okusasula poloti eno mu bbanga lya myaka esatu ng’osasula mpola mpola.
Mu nteekateeka eno ey’ekibanjampola, bwofuna ssente eziwera ebitundu 20 ku 100 ku poloti yonna gy’olonze mu Estate za Zion, aba Power Microfinance bagikusasulira ekyapa kyo ne kivaayo mu Zion ne kikola ng’omusingo, olwo n’otandika okusasula mpolampola okutuusa lwomalayo ebbanja ne bakukwasa ettaka lyo mu butongole.
Justine Nambwere, maneja wa Power Microfinance, yagambye nti amazzi n’amasannyalaze byonna weebiri mu Estate eno ey’e Matugga – Mbuggu ate nga n’enguudo ezikutuusa ku poloti yo nazo ziri kawerette. Ate poloti zonna ziri ku bugazi bwa ffuuti 50 ku 100 ate nga ebyapa bya kagwirawo.
Zion erina poloti mu Estate ez’enjawulo, okuli Mpigi - Kyanja, Mpigi - Lukalu, Mukono Kayanja, Sseguku Katale, Kakiri, Wakiso - Gimbo, Maya - Bulwanyi, Bombo, Matugga Star City, Kajjansi ku luguudo lw’e Ntebe, Kitende - Kagga, ne Namulonge Kiwenda.
Omukisa guzze. Tosigala mu bupangisa, kola okusalawo okunaagasa ebiseera byo eby’omu maaso, otambule olugendo lw’okukulaakulana ng’oli wamu ne Zion Estates, ne Power Microfinance, abajja okusitula embeera z’omuntu waabulijjo.