Bya Ponsiano Nsimbi
FFAMIRE y’omuvubuka eyasooka okukyala mu bazadde b’omugole eyabuze ng’ebula ennaku bbiri akyaze omusajja balumirizza nnyina w’omuwala okulya ebintu byabwe ate n’amala n’abajjerega olw’okumwagaliza omusajja omulala.
Bano nga baakulembeddwaamu Adadi Kiguli taata wa Sulaiman Male omuto, mukulu we Abdul Salaam, Sulaiman Ssemanda ne mukwano gwe Siraje Nsubuga basinzidde Katwe mu Kampala ne balaga ennyike olw’engeri bazadde b’omuwala gye babakolokoseemu muganda waabwe Sulaiman Male n’abamuweerekako mu kukyala ng’a babayita ‘Abalaasi; abatasaanidde kuwasa muwala waabwe.
Bino biddiridde Bushira Najjuuko eyabadde agenda okwanjula Farouk Mugalu ku Ssande ewedde okubula ku Lwokutaano bwe yali ava mu saluuni ku Zianab Aziz mu Kampala okumukolako ekyawaliriza bazadde okuggulawo omusango ku poliisi y’e Nsangi nga bamunoonya.
Bushirah Najjuuko
Ku Mmande Aisha Nalukenge yavaayo n’ategeeza nga bwateebereza muwala we okubeera nga yawambiddwa Male gw’agamba nti y’omu ku baakyala mu maka gaabwe nga yeegwanyiza muwala waabwe kyokka ng’abazadde tebaamusiima olw’okugenda mu maka gaabwe ng’asibye ebiviiri by’Ekiraasi ssaako empale eza bbalansi ne banne abaamuweerekerako ebiwakanyizibwa ffamire ya Male.
Ssemanda ategeezezza nti enteekateeka zonna ezaakulembera omukolo gw’okukyala mu bakadde ba Najjuuko yazirimu era nga baasooka kuwandiikira bakadde be bbaluwa esaba okukyala kyokka ne bagaana okugiddamu okutuusa bwe bawandiika endala ne bagitikka Najjuuko, olwo ne babakkiriza okugenda okukyala.
Yawakanyizza ebyayogeddwa maama nti ku bako abaaweerekerako Male tekwali wa Luganda lwe n’ategeeza nga bano bwe bakulemberwamu kitaabwe Kamada Mutumba ne maama waabwe era nga baabatwalira ebirabo okwali omuceere, ssukaali, ssabuuni,emigaati n’ebirala.
Najjuuko
Alumiriza taata ne maama wa Najjuuko okukulembeza ebyenfuna n’ebintu mu kifo ky’okufaayo ku ssanyu lw’omwana waabwe ne batuuka okubasalira ebintu ebyabalemesa okukola omukolo gw’okwanjula mu budde.
Yagambye nti taata asaba omutwalo gw’ente enzungu ebalirwamu obukadde 6,ate maama n’asaba kabadda ennene,ffirigi ennene,ttanka y’amazzi n’ebirala wabula nga bwe baasaba babakendeerezeeko ku bintu beerema ng’era babadde mu nteekateeka zaakutwalayo bintu ebyo bakime mukyala waabwe kyokka ate ne balaba amawulire nga waliwo omusajja omulala gwe baagala okumugabira.
Yalumirizza Mugalu okukubira muganda we Male amasimu agamutiisatiisa ate oluvannyuma n’amwegayirira bateese omukazi amumulekere omukolo gusobole okugenda mu maaso.
Siraje Abdallah Nsubuga mukwano gwa Male eeyavuga mmotoka mwe batambulira yategeezezza nti kikyamu abazadde abalya ebintu byabwe okuvaayo mu kiseera kino ne babayita abaayaye ky'agamba nti kivvoola ekitiibwa kyabwe ng’abasajja Abasiraamu.
Bushrah
Yasabye abazadde okuwa abaana omukisa bakole obufumbo era bakendeeze ne ku bintu ebyasabibwa omukolo gusobole okugenda mu maaso.
Farouk Mugalu abazadde gwe babadde baagala okuwa muwala waabwe yeegaanyi ebyogwerwa abaffamire ya Male nti abadde abatiisatiisa bamuleke omukolo gwe gusobole okugenda mu maaso.
Oluvannyuma lwa Najjuuko okuvaayo ne yeetwala ku poliisi ku Lwokubiri Male yategeezezza nti agenda kwogerezeganya naye ne bakadde be era bwe banaakkaanya baakugenda mu maaso n’omukolo ogwali gutegekeddwa.
Male yakyala mu maka ga ba Najjuuko mu October w’omwaka oguwedde .
Bushira Najjuuko bwe yeetutte ku poliisi e Nsangi ku Lwokubiri yategeezezza nti ekyamuwaliriza okwekweka ng’ebula ennaku bbiri, omukolo gubeewo kwe kubeera nga bazadde be babadde bamuwaliriza okufumbirwa Mugalu gw’atayala ekitegeeza nti ye ayagala Male gwe bayita 'Omulaasi'.