Claire Namara 25, nga yaliko amyuka Pulezidenti wa University y'e Kyambogo mu 2021, akola gwa kubala bitabo, nga mutuuze w'e Mutungo Bbiina e Nakawa y'ayimbuddwa omulamuzi wa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, Adams Byarugaba wakati mu bukwakkulizo.
Bw'abadde amuyimbula, omulamuzi asoose kumubuuza oba alina ekifo ky'akaayanira mu klezia e Lubaga gy'alumbe abantu wakati mu kusaba okubatataaganya!
Ono yaweereddwa amagezi nti singa alina ky'awakanya asooke kutegeeza ku Poliisi emufunire ekifo kyokka bw'aba era kino akiwakanya agende ku kkubo gy'aba akolera emivuyo okusinga okumalako eddembe ly'abantu abali mu kusinza omukama.
Okusinziira ku mpaaba kigambibwa nti, Namara nga July 28, 2024 ku lutikko e Lubaga mu Klezia, ono yataataganya abantu nga basaba bwe yakwata Bbendera ya Uganda n'ebipande okuli ekifaananyi kya Sipiika wa Uganda Anita Among nga bisoma nti ateekeddwa okulekulira.
N'ebipande bye, ono yatambula bukolokkolo ng'ayolekera Wolotaali n'abiggyayo n'akunga abantu bamwegatteko okwekalakaasa nti Sipiika alekulire era wano abaserikale abaali mu ngoye ezaabulijjo ne bamukwata okumwolekeza Poliisi ya Kampalamukadde gye yaggulibwako omusango ku CRB: 1972/2024.
Bwe yasimbibwa mu kkooti nga July 29, 2024, yayambibwako Looya we Eron Kiiza kati ali mu kkomera, n'ayimbulwa ku kakalu ka mitwalo 50 ezitali zaabuliwo.
Omulamuzi Byarugaba yategeezezza nti okuva olwo, oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi bwonna obumulumika ku bye yakola era n'amuyimbula ng'agamba nti singa walibaawo eyeemulugunya alimukwata n'addamu okumuggulako omusango